Buwama FM

E Mpigi basattira lwakusanyaawo butonde bwa nsi.

16 November 2022, 12:09 pm

Photo Charles Sharp Wikipedia Commons

By Moses Kazibwe

Enkima zirumbye ebyalo okuli Maggya, Buwunga, Mitalamaria ne Jalamba mu town council y’e Buwama sso nga waliwo n’ezazze e Kituntu  wabula nga zirya emmere eyasimbibwa abatuuze kyebagambye nti kigende kubalekera enjala.

Enkima zino zisinga kulabwako wakati w’essaawa ettano ku makya ppaka akawungeezi wabula nga tezitya bakazi n’abaana ate abatuuze bagamba zaffujjo ezituuse okujjula emmere n’okwanula engoye ate nga zeeraba ne mu ndabirwamu mu maka gaabwe.

Waliwo amagezi gebatandise okuzisalira gamba nga okukozesa embwa n’okusiiga obusa ku kasooli naye nga byonna bagamba bwezibimanyiira biba tebikyagasa

Batidde okukwatibwa obulwadde bwa Ebola wabula nga obuzibu bwonna babutadde ku basanyizzaawo ebibira enkima zino mwezaabeeranga

Akulira eby’obulimi, obulunzi n’obutale mu disitulikiti ey’e Mpigi Patrick Sserwadda atubuulidde ku lukomo lw’essimu nti baliko emitego gyebaaguze okutaasa abatuuze ku nkima.

Mr. Sserwadda Patrick (District Production and Marketing Officer – Mpigi)

Sserwadda era alabudde abaagala okutta enkima zino nti tebakikola buli kimu bakirekere abakugu kuba n’enkima ate butonde bwa nsi.

Enkima kinajjukirwa nti by’ebimu ku bisolo ebyomunsiko wabula nga kati mu Uganda enkima nnyingi zirabwa nnyo mu bantu nga ab’obutonde bw’ensi bakitadde ku basaanyaawo ebibira mwezaasulanga nga kati nazo zinonya bubudamu.