

17 March 2023, 12:12 pm
Omwami w’essaza lya ssabasajja Kabaka mussaza Bulemeezi omulangira Ronald Mulondo alaze okutya olw’ekirwadde ky’ekibumba ekiyitibwa Hepatitis C ekyeyongedde okwejirisiza mu Bantu ba Ssabasajja Kabaka mu ssaza lino .
Nga asinziira mu lukiiko ly’essaza ku kitebe ekikulu E Bbowa mu Disituliikiti y’eluweero olubaddemu n’okukubaganya ebirowoozo ku mbalilira y’essaza ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023 -24 eyanjuddwa omuwanika w’essaza Dr James Kyeyune , Kangaawo akubirizza abalyannaka okugenda okwekebeza ekirwadde ki Hepatitis C kibasobozese okufuna obujjanjabi obwamangu nga ekizimba tekinasamba dagala .
Okusinzira ku alipoota eyafulumiziddwa ekitongole ky’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda, abantu ebitundu asatu (30) ku buli kikumi abaakaberebwa omusaayi omulundi oguyise mu ssaza Bulemeezi baasangibwa nekirwadde ki Hepatitis C ekintu ekyeralikkiliza abakulembeze mu ssaza.
Era mu lukiiko luno Ssabalemeezi Ronald Mulondo mwasinzidde najjukiza Abalemeezi okwetaba mu misinde gya ssabasajja Kabaka eginabaawo nga ennaku z’omwezi 16/04/2024 . naddala okugula emijoozi nga obudde bukyaali kibasobozese okweteekateeka obulungi.
Jukira nti kanso y’essaza yakutuula nga ennaku z’omwezi 30/3/2023 awo ku mbuga y’essaza E Bbowa.
By:
Mugeere Emma