Radio COMNETU

26 May 2023, 12:57 pm

Abantu obukadde 3 ne kitundu bebatawanyizibwa obulwadde bwa maaso mu Uganda

Government esabiddwa okwongera okusomesa abakugu mukujanjaba amaaso kisobozese okukendeeza kumuwendo gwabannayuganda abalwala amaaso .

Okusinziira ku kitongole kyebyebulamu ekyeggwanga abantu obukadde 3.5 bebalina eddwadde yamaaso nga kubano 150,000 bokka bebakozesa galubindi okusobola okulaba obulungi.

Ekibiina kya Lapaire nga kino kikola gwakubera nokujanjaba amaaso nga kikulembedwamu akulira emirimu mukitongole kino Kenneth Twinamasiko basabye government okwongera okutendeka abaguku bamaaso basobole okujanjaba bannayuganda kiyambeko nokukendeeza kumuwendo gwabantu abalwala amaaso.

Bano era bakubirizza nebannyuanda okufangayo okugenda okukebelebwa amaaso buli kaseera okumanya bwebayimiridde kiyambeko okufuna obujanjabi obwamangu.

Lapaire era etaddewo n’entekateeka eyenjawulo eyokukebera abantu kubwerere kusisaawe ewankuluku kiyambeko abantu okumanya bwebayimiridde kundwadde yamaaso.