Gavumenti esabiddwa okukendeza kunsasanya yaayo.
13 January 2024, 12:47 pm
bya Annet Nakato
Ebitongole byo bwanakyewa nga bikulembedwamu ekitongole Kya civil society budget advocacy group ki CSBAG ngakino kyilwanirira omuntu wawansi okufuna muntekateeka za gorvenment Sako nokulungamya government muntekateeka zayo kivudeyo nekiwa gorvenment amagezzi okukendeza Kunsanya yegwanga okugenda nga ebikujjoko egwanga lyebiba nabyo nga public holiday buli mwaka egendo zebweru wegwanga nebintu ebilala mukawefube owokulabaolwo sente ezo zitekebwa mubintu ebiyamba omuntu wawansi.
Bino webijidde nga gorvenment omwaka oguyise yayanja embalirira yegwanga yomwaka gwebyensimbi 2024/2025 bwegenda okutambula jebabakubyemu ebitali ngabagmba ebintu ebiyamba omuntu wawansi byakendezebwa ensimbi nga ekitongole kyebyobulami kyebagamba nti kyakuteeka egwanga mukatyanaga olwesonga abantu abasinga bayimiridde kubyabulimi ,Jeff Gidaguyi Wadulo nga ononyakulira. Agamba ekya amawanga okuli America ne world bank okuvayo nezilangirira ngabwezijeko Uganda obuyambi olwokusayininga eteeka erikuguri abali bebisiyanga kino kyakukosa egwanga Uganda mubyenfuna ngera Uganda erina okusala amagezzi ngekozesa bulunji sente zerina olwosonga esawa yona namawanga amalala gandyesala okuwa uganda obuyambi .
Wano jeffe wasinzidde nalagga okutya olwebajja erigejja buli lukya lyebabanja Uganda mungeri yokwewula kyoka nga sente tezirina Ono agamba uganda eyitiriza okwewola sente nganekisinga okwasa enakku kwekuba nga sente zino zewolebwa kyoka nezitatekebwamu mubintu ebigasa abantu ngakino kyivudde kubuli bwenguzzi obususse enyo mugwanga.
Bino bitukidwako munsisinkano ebitongole bino jebibademu nabamawulire kukitebe Kya pelum uganda ekyisangibwa e ntinda mwebakubidde tochi mu budget frame work eyawebwayo munwezi gwa December omwaka oguwedde.
Ebitongole bino awatali kwetemamu byagala gorvenment esale Kunsanya yasente kubintu ebitayamba banansi sente zisobule okutekebwa mubintu ebyomugaso eri egwanga nga ebyobulimi ,ebyobulamu .
Era bawanjagidde gorvenment okutunulira neriso ejjojje eri ekitongole ekivunanyizibwa kukebeera omutindo gwebintu ekya national bureau of standards NBS olwemivuyo ejikyirimu nganekinonkyifiriza nyo egwanga.
Ate ye hajjati hasifa naluyiga awanjagidde gorvenment mumbalirira yomwaka 2024/2025 esiri eriteeka mubyobulamu naddala kumutendera ogwa wansi nga okutteka edaggala mumalwariro okusomesa abantu kungeri yokwetangiramu edwadde .
Hajjati hasifa era asabye gorvenment okutekawo omutemwa okwetegekera edwadde ekambwe ezibalukawo abantu baleme kuyisibwa bubi ngamukiseera Kya COVID-19 bwegwari.
End