Radio COMNETU

Pastor Jackson Senyonga yegaanye okubeera nakakwatte ku baana abawawabira Pastor Robert Kayanja obulya ebisiyaaga.

24 November 2023, 1:20 pm

By Annet Nakato

Omusumba wa kaniisa ya Christian Life ministries,Jackson Ssenyonga avuddeyo neyeganna ebizze byogerebwa nti aliko abaana beyawa ssente okuvaayo balumirize pastor Robert Kayanja okubasiyiga.

Kinajjukirwa nti waliwo abaana abobulenzi gyebuvuddeko abavayo nebalumiriza pastor Robert Kayanja okubasiyaga ekintu pastor kyeyegaana.

Kati bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku church ye eBwaise,pastor Jackson Senyoga ategezeeza nga ye bwatayina kakwatte kono na baana bano wabula nga bo bamutukirira nga bagala buyambi.

Senyonjo ategezeeza bwayawandikira pastor Kayanja nga amusaba okumusisinkana okusobola okwogera ku nsonga eno ekintu Kayanja kyeyagaana.

Kino kyawaliriza abaana bano kwekubira endulu mu kooti wabula DPP fayiro yabwe najjigala ate naye yongerayo ne ya Pastor Kayanja gyeyawaba.

Ssenyonga wano wasinzidde nategezaaza nga ye bwatayina ssente zonna zeyawa abaana bano era tabirinako kakwatakonna.

Kawefube waffe awokwogerako ne Pastor Kayanja agudde bukka bwetukubye ku ssimu ze ngateziriko.