Radio COMNETU

Ebibiina by’obwegassi ebiwerera ddala 37 bya kwolesa ebyo byebikola n’engeri jebiyambyemu abakyala n’abavubuka okwekulaakulanya n’okwegobako nnawookeera w’obwavu..

28 October 2023, 2:09 pm

By Nakato Annet

Ebibiina bino ebiri ku mutendera gy’essaza ekkulu erya Kampala ng’ekibiina ky’enkulaakulana mu ssaza ekkulu ki Caritas Kampala ky’ekikulembeddemu kaweefube ono, kibitegekedde omwoleso mwebigenda okulagira webituuse ku nsonga y’okukulaakulanya abantu n’ebitundu.

Ng’ayogerako naffe olunaku lwa leero, omukwanaganya w’ebibiina by’obwegassi ng’asinziira mu Caritas Alan Yiga, atubuulidde nti bafubye nnyo okulaba ng’ebibiina bino babiwa emisomo n’ebikozesebwa ebibiyamba okutambiuza obulunji emirimu.

Ye Tadeo Nnyanzi akuliddemu enteekateeka z’omwoleso guno ogugenda okubumbujjira ku kigo kya St Joseph e Nansana ayogedde ku nsonga ebateesezzaawo omwoleso guno omuli okulaba nga buli muntu agabana ku magezi aganaava mu bakugu abanaaleetebwa okusomesa ku nsonga ezitali zimu.

Omwoleso guno gugenda kubeerawo Ng’ennaku z’omwezo 4 okutuuka nga 5 omwezi ogujja nga katikiro wa Buganda asubirwa okubeera omugenyi omukulu guwagiddwa Centenary Bank, Airtel Uganda, Pax Insurance Ltd n’ebitongole ebirala.