Tiger FM

Ekibiina ky DP kyakuddamu okutereeza enkalala

30 April 2024, 8:09 pm

Oluvannyuma  lwolukiiko olwokuntiko 0lufuzi NEC  olwatuula nga 19-20  04 2024  mu kibiina kya  DP   mu kibuga e’Mbale, luno lwayisiza enteekateeka ezenjawulo  ekibiina mwekigenda okuyita okulaba nga kiterezebwa olwe byobufuzi ebibadde bikitabangudde. SSabawandiisi we kibiina kino Gerald Sirander  asinziiridde ku kitebe kye kibiina kino ku City House mu Kampala  nategeeza nti ekibiina kyayisiza enteeka eeka ezenjawulo omuli , okuzza obumu mu kibiina, okuwandiisa ba member be kibiina kino okuva ku  kyaalo okutuuka ku national  level nga kino oba olyaawo kya kuyamba ko okutereeza  ekibiina kino omwaka 2026 wanatuukira.

Sirander ono mungeri yemu alabudde ba member be kibiina kino nti oyo yenna anesigiriza natewandiisa  saaako nokuzza enkalala obuja, siwakukirizibwa kwesimba ku kifo kyona.

Dr. Gerald Sirander nga’alaga banamawulire semateeka wa DP.