Nakaseke Radio FM

“Mukuume ebiragaano byamwe,” -Msgr. Xavier Mpanga Francis

29 November 2022, 8:09 pm

Satifiketi za matirimonyo zibawerwedwa

Bya: John Mandevu,Julius Mutagubya, Susan Nakintu

Omukuumi w’essaza lye Kasana Luweero Munsinyori Xavier Mpanga Francis asabye abafumbo okukuma enteseganya enunji mumakka gabwe awamu nokwekwasa katonda. Okwoogera bino asinzidde kukiggo kya st. Kizito catholic parish e Nakaseke bwabadde akulembeddemu ekitambiro kyamisa nga ekiggo kino kijaguza jubileewo ey’emyaka 25 egyessaza lye Kasana Luweero bukyanga litandikibwawo. Mu misa eno munsinyori mpanga awadde abaana 230 essakalamentu lya kofirimansiyo era nagatta ne migogo gy’abagole 3 mubufumbo obutukuvu nabasaba okunyweza ebiragaano byabwe, ate era nokukuza abaana obulunji muddini olwokwewala obutabamguko mumakka.

Bwana mukulu we kiggo kino Rev.Fr. Ssengendo Peter asinzidde wano nasiima nyo abantu bonna abalufubanye okulakulanya ekiggo kino awamu ne ssaza lyona okutwaliza awamu, era awadde satifiketi eri bonna abayambyeko emirimu gyekifo kino okutambula obulunji  nga kubano kuliko omubaka w’e Nakaseke y’omumaserengeta(south) Lutamaguzi Ssemakula.

Ye ssabakirisitu we kiggo kino Nsereko John Bosco alaze obwenyamivu olw’obutaberawo mpuliziganya nunji wakati w’abakirisitu nabakulembeze babwe ekiviriddeko emirimu gye kiggo kino obutatambula bulunji.