Kangawo and His Lkukiiko
Nakaseke Radio FM

A Balemezi Mwerinde ekirwadde kya Hepatitis C

17 March 2023, 12:12 pm

Omwami w’essaza lya ssabasajja Kabaka mussaza Bulemeezi omulangira Ronald Mulondo alaze okutya olw’ekirwadde  ky’ekibumba ekiyitibwa Hepatitis C  ekyeyongedde okwejirisiza mu Bantu ba Ssabasajja Kabaka mu ssaza lino .

Kangawo Addressing his Lukiiko at Bowa Bulemezi

Nga asinziira mu lukiiko ly’essaza ku kitebe ekikulu E Bbowa mu Disituliikiti y’eluweero olubaddemu n’okukubaganya ebirowoozo ku mbalilira y’essaza ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023 -24 eyanjuddwa omuwanika w’essaza Dr James Kyeyune , Kangaawo akubirizza abalyannaka okugenda okwekebeza ekirwadde ki Hepatitis C kibasobozese okufuna obujjanjabi obwamangu nga ekizimba tekinasamba dagala .

Okusinzira ku alipoota eyafulumiziddwa ekitongole ky’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda, abantu ebitundu asatu (30) ku buli kikumi abaakaberebwa omusaayi omulundi oguyise mu ssaza Bulemeezi baasangibwa nekirwadde ki Hepatitis C ekintu ekyeralikkiliza abakulembeze mu ssaza.

Era mu lukiiko luno Ssabalemeezi Ronald Mulondo mwasinzidde najjukiza Abalemeezi okwetaba mu misinde gya ssabasajja Kabaka eginabaawo nga ennaku z’omwezi 16/04/2024 . naddala okugula emijoozi nga obudde bukyaali kibasobozese okweteekateeka obulungi.

Jukira nti kanso y’essaza yakutuula nga ennaku z’omwezi 30/3/2023 awo ku mbuga y’essaza E Bbowa.

By:

Mugeere Emma