Buwama FM
Buwama FM
4 September 2026, 7:48 pm

By Nsubuga John
Ekitongole kya Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA), nga kikolagana ne Mountain of the Moon University esangibwa mu Fort Portal City, Kabarole District, kyategeka olukungana olwa 4th Student-Farmer-CSO Research Exchange Platform 2026.
Olukungana luno lwagenderera okuzuula ebizibu ebisoomooza abalimi, okukola okunoonyereza ku nsonga ezo, n’okuzuula engeri okunoonyereza gye kuyinza okuyamba mu kubigonjoola.
Abayizi n’abalimi baalabudde ku nsonga ez’enjawulo era ne batuuka ku bimu ku by’oyinza okukolwako. Omu ku bayizi ba Mountain of the Moon University, Waswa Victor, yannyonnyodde ebimu ku byogeddwako mu lukungana.
Mountain of the Moon University essira erisinga eriteeka ku kusomesa eby’obulimi. Alex Mwine, akola ne ACSA nga Monitoring and Evaluation Officer, yannyonnyodde ekigendererwa ky’olukungana luno.
Abamu ku bitongole ebikolagana ne ACSA nabo baanyonyodde ku byabadde mu nsisinkano. Abalimi okuva mu bitundu eby’enjawulo omuli Masaka, Mpigi, Mubende, Mityana, Kabale, Buikwe ne Busoga nabo baayogedde ku nsisinkano eno.
Abalimi baagambye nti amagezi ge bafunye bagenda kugasasanya mu balimi abalala mu bitundu gye bava.
ACSA ekola okusomesa abalimi mu Uganda yonna ku nnima etakosa butonde bw’ensi, n’okunoonya eddagala ku bizibu ebisoomooza abalimi, naddala ebiva ku nkyukakyuka y’obudde.