Buwama FM
Buwama FM
8 July 2026, 11:28 am

By Nsubuga John
Ebikozesebwa byabukadde n’abukadde bwa nsimbi banna Rotary byebawadde amalwaliro gano biyambe okukendeeza ku muwendo gwabazaalira mu malwariro gano kyokka ne bafuna obuzibu obuva ku bikozesebwa okuba ebitono.
Ebikozesebwa omubadde ebitanda abakyala kwebazaalira, ebyuma omuteekebwa abaana ababa baakazaalibwa, Obutanda bwabaana abakazaalibwa, ebyuma omuteekebwa abaana abazaalibwa nga tebatuuse, ebitanda kwebalongooseza abakyala abazaala, ebyuma ebikozesesebwa mu kuzaala, nabuli kalonda eyeetaagisa abasawo okuzaalisa abakyala. Ebyuma bino bituukidde ku dwaliro lya Mpigi Health Center 4, nga bikwasiddwa abakulembeze ba district eye Mpigi n’abasawo ku dwaliro lino.
Banna Rotary okuva mu Rotary Club ya Lungujja ne ye Nabbingo abakulembeddwa John Matovu ne Saad Mwanje bategeezza mu butuufu wabaddewo obwetaavu okuyamba ku malwaliro oluvannyuma lwe bbanga eddene nga banna mpigi bakaaba.
Abasawo abazaalisa basiimye ettu erikubidwa eddwaliro lya Mpigi era nebategeeza tewali kati kyebekwasa okujjako okukola
Banna rotary bano basabye ebiweredwayo mudwaliro bikole ekyo kyebiteekeddwa okukola
Abakulembeze ba district ye mpigi abakulembeddwamu omukubiriza w’olukiko lwa district ye mpigi Katende Patrick bakulondoola ebintu bino obutayonooneka.
Banna Rotary bagamba nti kaweefube ono wakutuuka mu malwaliro amalala okwetooloola egwanga Uganda awakyali obwetaavu nga buno.