Buwama FM

Buwama fm ekwenyumirizamu nga omwana gw’eyaleera

2 November 2026, 2:37 pm

Bya Nsubuga John

Munnamawulire wa Bukedde agasakira mu bitundu by’e Mpigi Joseph Kinobe asiimiddwa abakulira ekitongole kya Vision Group olw’okuba omukozi asinze banne okukola emirimu egitunda ekitongole.

Kinobe aweereddwa ebbaluwa emusiima wamu n’ebbaasa, nga bimukwasiddwa Mky. Gloria Kaitesi, Chief Human Resources Officer wa Vision Group.

Joseph kinobe yawerezako Ku radio buwama nga yeyitta Akiiki Mulera era nga yawerezanga kazanyirizi mu program eyakawungenzi eyayitibwa nga NenkyaLunnaku nga buwama fm tenakyuka kuva Ku 103.3 FM okudda Ku 90.2 FM.Kinobe yasesetula ebbigere okugezesa emikisa gye Era natandika okukolera vision group.Kinobe Joseph yavuganyako Ku bwa Mayor bwa buwama Town council Naye nawangulwa.

Buwamafm ekwenyumirizamu olwo buwanguzi bwotuseko.