Buwama FM

Byabakama agumizza abantu ku bukulembeze bw’akakiiko k’ebyokulonda

4 August 2026, 4:43 pm

Omulamuzi saimon Peter mugenyi byabakama.

By Kazibwe Moses

Oluvannyuma lwa gavumenti okulangirira nti okulonda obukiiko bw’ebyalo mu Uganda yonna kugenda kukolebwa akakiiko k’ebyokulonda akakulirwa Omulamuzi Simon Peter Mugenyi Byabakama, akakiiko kano kategeezezza nti kanoze nnyo era kawezezza okutegeka okulonda okwo.

Wabula okulonda okwabaddewo nga 28/7/2026 kwalimu ebigambibwa okubaamu obutabanguko n’obuvuyo, omwali ebikolwa by’obukumpanya mu kulonda, okutyaatya n’okutiisatiisa abalonzi. Abakulembeze abava mu bibiina ebivuganya gavumenti bavuddeyo ne bawakanya ebigambibwa nti abamu ku bakulembeze ab’amaanyi mu kibiina kya NRM bakozesezza obuyinza obusukkiridde okukwata ensonga z’okulonda n’okuwagira abantu bebaagala okusinga okussa ekitiibwa mu ky’abatuuze.

Naye Omulamuzi Simon Peter Mugenyi Byabakama agambye nti tewali muntu yenna, nga mw’otwalidde n’abakulembeze b’ekibiina kya NRM, alina buyinza kukwata nsonga z’akakiiko k’ebyokulonda oba okukalagira ku ngeri y’okukola emirimu gyako.

Yayongedde n’okukakasa abantu nti buli alina ensonga oba okwemulugunya ku nkola y’ebyokulonda asobola okugitwala mu kakiiko k’ebyokulonda egisengejje era egikolereko mu mateeka.

Omulamuzi Byabakama bino yabyogeredde mu lukiiko lw’abakulembeze lwe yatuuzizza.

Omulamuzi Byabakama nga ayogera.