Buwama FM

DHO akubiriza abakyala okwettanira amalwaliro nga baagala okuzaala abaana abalamu

15 July 2026, 12:49 pm

Dr. Margret Nanoozi DHO akulirira eby’obulamu mu Mpigi .

Bya Nsubuga John

Ab’eby’obulamu mu district eye Mpigi bennyamivu olw’abakyala ab’embuto abakyelemye okwettanira amalwaliro okufunayo obujjanjabi, n’ebeesigula bamulelwa ku byalo abatalina bumanyirivu ku byakuzaalisa.

Kino kitadde obulamu bano mu matigga era nga bangi bafiiridde mu mikono gy’abamulerwa abalala nebafiira mu malwaliro mu kiseera eky’okuzaala olw’obujjanjabi obutaali bwakikugu bwebaafunira mu bamulelwa.

Bino bibadde mu nsisinkaano abebyobulamu mu Mpigi gyebabaddemu ne bannakazaddde okubasomesa engeri gyebalina okweyisaamu nga bali mbuto kino kibayambe obutakosa mwana ali mu lubuto oba bbo bennyini okosebwa.

Amyuka akulira eby’obulamu mu Ditrict ye mpigi Dr. Margret Nannozi ategeezezza nga bamulerwa bwebaabawera naye abakyala banji bakyabetanira okufuna obujanjabi kyokka embeera bwebatabukirako eyo olwo nebajjukira okuddukira mu malwaliro oluusi nebatasimattuka.

Dr Margaret Nanoozi DHO wa Mpigi nga anyonyola ku buzibu abakyala bwebafuna mu bamulerwa.

Bo abaami ababadde mu musomo guno balumiriza bakyala baabwe nti oluusi embeera eno abakyala bebagyetuusaako

Omu ku baami nga anyonyola ku mbeera bakyala babwe jebayatimu nga tebagenze mu malwaliro ga government ewali abakaggu.

Endiisa y’abakyala nayo ebadde nsonga nkulu nnyo mu musomo guno era nga abakyala baagadde okumanya ekibaviirako okulya ettaka mpozi nokuyoyayoya okususse.

Dr Margret Nanoozi nga anyonyola obulabe obuli mukulya ettaka eri abakyala be mbuto.

Dr. Nannozi alabudde abakyala ku kabi akali mu kulya ettaka nga bali mbuto n’ategeeza nga kino bwekitakoma ku kukosa mwana ali mu lubuto lwa nnyina wabula bulwadde bwennyini eri abakyala.

Dr.Nannozi ategeezezza nti bino byonna biggwawo na ddagala lyebafuna nga bagenze mu malwaliro.

Dr Nanoozi Margaret nga anyonyola empeke bwezisobola okuyamba okujjawo ekyoyoyo mu bakyala abalya ettaka.

Wano ab’ebyobulamu webasabidde obuvunaanyizibwa bubeere ku buli omu n’abakulembeze mu bitundu okufuba okusomesa abakyala okwettanira amalwaliro bwebaba nga baagala okuzaala abaana abalamu.