Buwama FM

Muzze sente za pdm zemwewola

17 September 2026, 12:22 pm

by kazibwe moses

mukawefube wa government okujja abantu mu bwavu nga eyita mu kubawa sente ezimanyiddwa enyo nga eza parish development model (pdm) era nga sente zino ziba zakuza naye kumagoba amatonotono wabula amyuka RDC wa mpigi district mr yahaya katunze kavuma nga aliwamu ne ba assistant RDCs yagulawo enkola yokutabaala district yonna nga asomesa wamu nokulungamya abo bonna abatwala sente za pdm nabasubira okuzifuna

Abakulembeze ba buwama town council nga bali mukusomesebwa.

wabula deputy RDC yahaya katunze kavuma yalaze obwelalikirivu eri abantu abatwala sente za pdm zino naye nga baganye okuziza era nagamba nti buli yenna eyatwala sente za pdm nga asubira nti siwakuziza yelimba binno yabyogeredde mu lukungana lwabakulembeze lweyatuziza mu community center mu buwama town council

deputy rdc yahaya katunze kanvuma nga ayogera.

ate ye assistant RDC mr kivumbi yalaze obwelalikirivu eri ekiba ttaka no kusawira abantu ebimmera ekisuse mu mpigi naye nagamba nti bweziba nga program za government nadala pdm zakutambula ensonga eyo erina okolwako mubwangu ddala

assistant rdc kivumbi nga anyonyola ebibadde mu lukungana.

mungeri yemu ssetebbe wa Nrm mu buwama town council mr magala levi yasabye abakulembeze bonna okukolera awamu kulwabuwama eyesimisa era nabategeza nti akalulu kagwa Kati ssawa yakukola era nabasaba okusa ebibiina byobufuzi ebali bakole ne yebaza ne government okuleeta enkola eziwerako omuli ne ya pdm okulaba nga ejja abantu bayo mubwavu

Ssentebe wa nrm magala levi nga ayogera oluvanyuma lwensisinkano ne deputy rdc.