Buwama FM
Buwama FM
3 July 2026, 9:08 pm

By Nsubuga John
Kizuuliddwa nti omuwendo gwabakyala bangi n’addalala abali mu myaka emito, ekyokwettanira emmere ezimba omubiri tebakitwala nga nsonga nkulu ate era nebatafuna kusomesebwa bakugu mu bya ndiisa kino nno nekileetera abakyala bano okufuna obuzibu nga bazaala wamu n’abaana baabwe oluusi abazaalibwa nga tebatuukiridde.
Dr. Margaret Nannozi agamba nti ministry y’akwetegereza nnyo endiisa y’abaana mu masomero kubanga bakizudde nti abafuna obuzibu baba bakava mu masomero etali ndiisa nnungi esoboola okukuza omwana mulubuto.
Mu mbeera eno Dr Kagwa Sulah omukugu owa social behavioral change okuva mu ministry y’ebyobulamu ayanjulidde district ekika ky’empeke z’abakyala ekipya ekimanyiddwa nga Multi Micro Nutritional Supplement (MMS) nga Ministry of health ekireese okudda mu kifo kyezo ezibaddewo eziyitibwa Ferus abakyala zebaakazaako obuweke obumyuufu
Okusinziira ku Dr Kagwa Sulah owa social behavioral change,empeke zino zakuyamba abakyala okubayisa mu kiseera webabeera embuto n’obutafuna buzibu mu kuzaala singa baba bagoberedde amateeka g’ekisawo.
Dr Margret Nannozi agamba waliwo essuubi eddagala lino lyakuyamba ku bakyala kubanga government weyakaliteeka likoze bulungi
Okusinziira ku nteekateeka ya Ministry y’eby’obulamu, eddagala lino lyakutwaliwa mu malwaliro ga government mu region ssatu okuli karamojja, Acholi ne Buganda.