Buwama FM
Buwama FM
14 October 2026, 8:20 pm

Bya Nsubuga John
Minister omubeezi owebyobuvubi Robert Nduggwa Migadde asinzidde Ku Mwaalo gwe kamaliba mu Ggombolola ye Nkozi ekulemberwa Francis Bbuye nalangirira ebikwekweto by’envuuba embi bwebiganda okutandika mu kawefubbe wokukuma enyanja n’omulimu gwobuvubbi nga buli muntu agweyagaliramu.
Minister era ategeezezza NGA envuuba embi bweguli omusambwa nga gusaana kunogera ddagala , Ono era arabubudde abo abakyalemedde mu nvubba embi okulokoka nga betanira eyo yokka eneyamba okuzawo buli muntu okweyagalira Ku Minister Era atusse nolugambo nti omuvuubi teyandisabye sente za pdm nga enyanja ekumidwa bulungi.
Minister era ayogedde nne kununda eya cage ne ponds government jekubiliza abantu okwetanira nga yemu Ku nkola eneyamba okukuma enyanja nebyenyanja okukula obulungi,era ategeezezza abavuubi okwetanira envuuba ettamenya mateeka akwewala ebibonerezo ebikwata abbe nvubba embi gamba okusibwa emyaka ebbiri oba okusasula ensimbi obukadde bbuna.
Entekateka Eno eyokusomesa Ku nvubba embi yetabiddwako omubaka wa president Sarah Nanoono Kaweesi,Diso Mpigi, akulirira ebikwekweto Ku nyanja Maj Ssebukera, akulirira ebyobulimi obulunzi n’obuvubbi Patrick sserwadda, district fisharies officer awamu NE chairman we kamaliba ate nga Ssentebe wa Nrm owa Mpigi Era coordinator wa ONC owa greater Mpigi Omukulu sulaiman Kaweesi.
Ono Naye asabye government okwongera sente zewa abebikwekweto okusobola okukola obulungi omulimu gwabwe..
Ebikwekweto by’envuuba embi n’okusomesa abavuubi kugenda mu maaso Ku myaalo gyona muggwanga.
Wabula Era abavuubi ba mukeene baweredwa essubi lyokuddamu okubba Era nababakulira obukiiko bwabavubi nebalabulwa.
Twogeddeko n’abaamu Ku batuuze nebabalagga embeera Eno bwebakosezamu