Buwama FM

Omubaka wa president atuura e Mpigi Sarah Nannono yekokkodde bannakigwanzi

20 August 2026, 5:26 pm

Rdc Sarah Nanoono Kaweesi mu yaffesi yye

By Nsubuga John

Nannono agamba Bano balina ekigendererwa ekyokumulemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obwamukwasiisibwa nga bamuyita omufere.

Rdc Sarah Nannono Kaweesi nga anyonyola Ku bamuyita omufere.

Nannono agamba nti embeera eyokumusojja n’okumuyita omubbi w’ettaka byandimulemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ol’wabo abamulima empindi ku mabegga.

Ono abadde asisinkanye ba nna Mpigi okubategeeza ezimu ku programs za government ezikyetaaga amaanyi aga wamu nga bali kitole ng’abakulembeze.

Ono agamba nti okusoomooza kwasanze mu bbanga ely’omwaka ogumu be bantu beyanditambudde nabo mu kukulaakulanya district eno ate mu kiseera kino bamukuba magi mavundu okumulemesa okuweereza.

Ono agamba nti bano bayitidde mu ntalo za ttaka zazze alwana okusuuza abafere kyokka olwamaanyi gataddemu nebamuyita omubbi.

Nanono Kaweesi nga anyonyola Ku bamulwanyisa

Sarah Nannono nga ono president museveni yamuggya ku kifo bwa kayima bwe ssaza lya Mawokota kyeyamalamu emyezi 6 gwokka agamba nti olwasiinya ku kyokwagala okwesimba ku kifo kyomubaka omukyala owa district eye mpigi olwo ababi nebatandikira wano.

Nannono okwogera bino byonna nga n’abamyuka abamu baatandika dda okwemulugunya nga bagamba mbu tabawa mukisa nabo kubaako nsonga zebakwatako baziggguse nga buli nsonga yye y’ayagala agikoleko ekiviirako n’abantu okwetuuma mu nkuubo za zekizimbe Kya district eye mpigi okuli office ye saako okusiiba ne mu lujja lwekizimbe Kya district nga balinda abakoleko.

Nannono agamba nti wakugenda mu maaso nokukola emirimu okutuusa mukamaawe president lwalisiima namukyusa oba okumuwa obuvunaanyizibwa obulala.

Nanono Sarah Kaweesi nga anyonyola lwaki president Museveni yamulonda okukera rdc we Mpigi

Ssentebe wa district ye mpigi Simon Peter ategeeza nga embeera yokukkakkanya abagezaako okukola bwetajja kubayigula ttama kubanga okukolera abantu kyekyabaleta okuweereza nga ssemateeka bwabalagira.

Simon Peter kawuki Ssentebe wa district ye Mpigi nga anyonyola nti bajja kutereza bizibu byaba na Mpigi