Buwama FM
Buwama FM
13 October 2026, 6:29 pm

Bya Nsubuga John
Olukiiko lwaba Minister olw’omulundi ogwe kkumi n’ebbiri olwatudde mu State House lulina ensonga ezenjawulo zebakanyizako nga muno ensonga ey’okumwanjo mwabaddemu ekya government nga eyitta MU ministry yebyobulimi,obulungi nobuvubbi ,basazewo okwongera amanyi mu kufukirira ebilime naddala Ku balami abalina farm ennene, abalimi abaliranye enyanja ,dams nebitundu ebiriranye amazzi.
Bino byogeddwa Minister Justine Kasule Lumumba Minister wa ICT and national guidance mu lukiiko lwabamawulire olutudde leero Ku ssengejjero lya mawulire e Kampala.
Kasule era ayogedde nti government yakuteka amanyi ku kyobuggaga kyomuttaka ki luthium ekikolebwamu battery eziyambako ku manyi gg’enjubba mu kukuba amazzi aganayambako mu kufukirira.
Minister era ayogedde nekukyokokomya okwokya Amanda NGA batema ebibbira n’ategeeza nti government yayisa dda etteka nebiragiro Ku nsonga Eno.Era government yagendereramu okusobozesa okuzawo ebibbira,entobazi ebiyamba ebitundu 40/100 okukola enkuba netutamosebwa kyeya.
Ensonga ezasalidwawo ziri mukagga
okwongeramu amanyi mukufukirira.
Okukozema emigga okutusa amazzi mubitundi omuli abalimi.
Okutereza dams ezayononeka okusobola okutusa amazzi mu balimi abaliranyewo
Okusiima amazzi naddala awali amazzi okuyambako abalimi mu kulima no kufukirira.
Okutambula obulungi bw’ebyenyanja.
Ekunganyizo lyebyuuma ebyekikuggu ebikozesebwa mu kulima awamu nokusiima amazzi agayambako Era government yakwongera ebyuma bino mu regions ezenjawulo