Buwama FM
Buwama FM
12 September 2026, 7:35 pm

Bya Nsubuga John
Omuvubuka ategerekese nga Makubuya Andrew owe 23 nga nzalwa eye Buganga mu muluka gwe Nindye mu Ggombolola ye Nkozi laddu amutidde mu kisawe e Bbongole mu mipiira jebisomesa ejibadde jategekeddwa parish ya mitala maria Ku mutendera gwa zone. Makubuya Andrew kati omugenzi yaliko omuyizi Ku St Balikuddembe sss mitala maria nga captain wa team y’essomelo
Makubuya Andrew laddu emutiddewo NE mune omulala nafuna ebisaggo era adusiddwa Ku Ddwaliro lya Gombe.
Police eye Buwama etusewo nekakasa bino era nga wetukoledde amawulire gano nga omulambo gwa Andrew gukyali Ku Ddwaliro lya St Anthony mitala maria health center 111.
Akuliddemu entekateka z’emipiira jino ssabavubuvaka Kalebu Ronald atunyonyodde ebibaddewo nga laddu ekubba Makubuya
Nabavubuka WA mitala maria parish Nsubuga Benitah ate nga yye councillor w’omuluka gwa Mbizzinya naye annyonyodde ku mbeera nga bwabadde
Maama w’omugenzi nga ye Mukyala Naggayi Isabel myaka 54 agamba amawulire ga laddu okukuba mutabani we gamusanze Buwanda ewaka we
Couch WA team omuvubuka Makubuya Andrew mwabadde asambira agamba nti kino ekikangabwa kibakubye Wala nnyo era ntisa y’amanyi
Akulembera buwama Town council Abdu Rashid Nkinga Mayor ayogedde Ku mbeera Eno nalabula abatuuze okubera bulindala Ku nkubba ebindabinda okutandika season
Emippira jino Makubuya Andrew mwafiridde jibadde ku level eya zones era nga jejibadde jikulembeddemu ebikujjuko by’okukuza olunaku lw’abavubuka mu mitala maria parish olinaberayo NGA 20 omwezi guno Ku Sunday.Kitegerekese nti olunaku luno lusaziddwamu nentekateka zonna okusinzira Ku Rev father Mukwaya Nicholas chaplain w’abavubuka Ku mitala maria parish