Buwama FM

Ogwa Kiyagga ne Amelia gwongezeddwayo

21 September 2026, 6:55 pm

Hon Ann Amelia kyambadde omubaka wa mawokota north leero mu court.

Omulamuzi wa Kooti enkulu e Mpigi Jameson Kalimani Kalemeera atadewo olwanga 6 ne 7 Kooti okutandika okuwulira omusango wakati wa Ameria Kyambadde ne Hillary kiyaga Innocent ogwawabwa Kiyaga Innocent oluvanyuma lwakalulu kabona aka 2026.

Omulamuzi bano abasabye obutakandaliriza bintu bibasabidwa omuli empapula ziyite DR Forms okwalangirirwa Ameria Kyambadde kooti esobole okutandika okuwuliriza omusango guno.

Oluvanyuma lwa Kooti okugoba okusaba kwabanamateeka ba Kiyaga Innocent nga basaba Kooti eragile akakiiko kebyokulonda okuwayo empapula kwekasinziira okulangirira Ameria Kyambadde nga omubaka wa Mawokota leero kooti ezemu okutula kunsonga

Omulamuzi olumaze okukalira banamateeka ba Kiyaga nga kumulundi guno bakulembedwamu Medadi Lubega Segona basabye kooti nti weba kooti yagana ekyakakiiko kebyokulonda okuleta empapula wakiri oluda lwa Ameria Kyambadde lwo luweyo empapula ezo omusango guno gusobole okutandi

Hon Medard Ssegona lawyer wa Dr Hilderman Kiyagga nga anyonyola kyebazako.

Okusaba kwabano kooti ekiriziganyiza nakwo, omulamuzi nasaba enjuyi zombi okuwayo ebizisabidwa awatali kukandaliriza kooti esobole okugenda maso nokuwulira omusango

Mukugenda mumaso nomusango guno, omulamuzi alabude banamawulire okwewala okuwandiika ebikontana ne kooti kyoka neyebaza abawagizi benjuyi zombi olwobukakamu bwebolesereza mukooti nasubiza nga kooti mwatuula wetagya kukugira muntu nomu kuyingira kooti singa basigala nga beyisa bulungi.

Omulamuzi ategezeza nti bano nga bamaze okuwayo ebibasabidwa nga 30 wakuwa banamateeka benjuyi zombi kooti kyenaba esazewo olwo okuwuliriza omusango kutandike nga 6 ne 7 omwezi ogugya.

Bano olufulumye kooti, enyimba eziwana enjuyi zombi zisanikide olugya lwa kooti nokweyolekeza onyimba ezikona oluda noluda.

Amelia kyambadde leero ku court e Mpigi nga ayogerako eri abawagizi bbe.
Amelia kyambadde nga anyonyola Ku biwandiko bya electoral commission ebisabibwa ab’oludda lwa Kiyagga.

Wabula Kiyaga ne Ameria buli luda lulumiriza lunalwo kulumalira bude kyoka abawagizi babwe bali serious nyo kugira kusinga bebalonda.

Dr Hilderman Kiyagga nga ayogerako nabawagizi babe oluvanyuma lwa court.

Kinajukirwa nti ebyava mukalulu kano byalaga nga Ameria awangude nobululu emitwalo ebiri mu kasanvu mu nsanvu mu butano(27075), Kiyaga Innocent nakwata kyakubiri nobululu emitwalo ebiri mu enkumi nya mu lunaana mu kamu(24801) ekintu Kiyaga kyeyawakanya nadukira mu kooti ebatawuluze