Buwama FM

Butambala etava muto bayisewo okwesogga oluzanya lwa semi final

19 September 2026, 8:51 pm

Essanyu ly’abazanyi BA Butambala e Kinoni(Photo credit: Shalom)

Bya Nsubuga John

Masaza cup:Ekikopo kya Masaza ga Buganda omupiira ogwokudingana Ku mutendera gwa quarter final batabani ba katambala basobodde okuwandulamu essaza lya Busujju mu kakodyo okokusimula penality oluvanyuma lwokusibagana goal nga muluzanya olw’asooka batabani ba Kasujju batimpura batabani ba katambala goal emmu Ku kisawe e Kakindu.Kati mu gwa leero batabani ba katambala bakubye batabani ba Kasujju goal emu eresewo okusibagana mu goal era awo Butambala nejjamu Busujju mu kakodyo ka “penalities” 4_2 NGA kiwadde Butambala obuwanguzi okweyongerayo Ku luzanya olwa semi Omupiira guno gusambiddwa Ku kisawe kya Kibibi sss.
Head coach wa Butambala Ssekabira Eddie annyonyodde ne ssanyu Ku buwanguzi bwebatuseko

Head coach Ssekabira Eddie owa Butambala nga ayogera ku ssanyu ly’ebatuseko leero.

Abazanyi BA Butambala nabo basanyuse okuyitawo era nebawagga

Omuzanyi WA Butambala nga anyonyola NE ssanyu ly’ebatuseko.

Abamu Ku bawagizi nabo basanyuse okuyitawo okwesogga oluzanya oluddako

Abamu Ku bawagizi ba Butambala nga balagga essanyu.

Emipiira emirala gya lunaku lwa Sunday nga 20 era gyona gyakusambibwa mu budde bwebumu.

Olukangagga lw’emipiira egyokusambibwa olunaku olwenkya .