Buwama FM
Buwama FM
16 September 2026, 2:14 pm

Bya Nsubuga John
Ku kyalo Kanani ekisangibwa mu Town council eye Buwama abateberezebwa okubba embuzi era basangiddwa nayo batiddwa mu bukambwe.Abattiddwa bategerekese nga Lule Ivan NE mune Kiwalabye Joseph ababadde batambulira Ku piki piki number UMA 717KU Bajaj.Embuzi evuddeko okitibwa kwabano ebadde ya Mante asangiddwa NGA abadde tariwo nga abadde mu nimiiro mu kasera webabidde embuzi ye.
Abatuuze abatakiriza kwogerako naffe bakumyeko Ivan Lule NE mune Kiwalabye Joseph omuliro ogubatiddewo.
Police eye Buwama etusewo emirambo nejijawo nga nokunonyereza kutandise
Ssentebe we kyalo Hajji Hassan Ssekabira atunyonyodde ebibaddewo ku kyalo kye nateegeza nga abatuuze bwebamusinziza amanyi era nakubira police eyimukiddemu Naye nesanga nga Bano batiddwa.
Waliwo abamu Ku batuuze abavumiridde ekikolwa kino ekyokutwalira amateka mu ngalo ssako nokubiriza abavubuka okukola okwewala ebyobwerere