Buwama FM

Abalimi mu Mpigi basaba obuyambi mu kulima okutakosa butonde

27 September 2026, 4:18 pm

Abamu ku balami aba ACSA nabakuggu ba district munsisinkano e Mpigi.

Bya Nsubuga John

Abalimi n’abakulembeze b’ebibiina by’abalimi mu disitulikiti y’e Mpigi basabye abakulembeze ba disitulikiti okussa ensonga z’okulima okutakosa butonde bw’ensi mu nteekateeka n’okuteekerateekera embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027.

Okusaba kuno kwakoleddwa mu lukiiko olwabadde lwetabiddwamu abakulembeze ba Regenerative Agriculture Productive Use of Renewable Energy (RA-PURE) Association, abalimi abamanyiddwa nga ba “champions” wamu n’ekitongole kya Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA).

Abakwatibwako basisinkanye abakulu b’ebyobulimi mu disitulikiti nga bakulembeddwamu Ssekivuvu Valentine, Senior Agriculture Officer era nga ye focal point wa Power for Food, ne boogera ku ngeri y’okutumbulamu ennima etakuuma butonde bw’ensi bwokka, wabula n’eyongera ku mmere n’ensimbi mu maka.

Abalimi basabye disitulikiti okubayambako mu kukozesa amasannyalaze g’enjuba mu kufukirira mu biseera by’ekyeya, okukozesa biogas mu kufumba n’okukozesa ebivaamu nga obusa obw’okuteeka mu nnimiro. Era basabye obuyambi mu bulunzi n’enkola endala ez’ennima ezikuuma obutonde.

Mu lukiiko luno era mwakubiddwa essira ku kuwandiisa ekibiina kino mu mateeka, kisobole okumanyibwa mu butongole n’okwongera amaanyi mu kulwanirira ensonga z’abalimi.

Alex Mwine okuva mu ACSA, ekitongole ekitegeka abalimi ku mutendera gwa disitulikiti okubayamba okwekolamu obwegassi n’okulwanirira ensonga zaabwe, yagambye nti ensisinkano eno ebadde mukisa eri abalimi, abakugu n’abakulembeze b’ebyobulimi okwogera ku bizibu abalimi bye basanga n’okunoonya eby’okubigonjoolamu.

Alex Mwine wa ACSA nga ayogera ku nsisinkano y’abalimi nabakuggu ba district.

Ssekivuvu Valentine yakakasizza abalimi nti ensonga ze baayogeddeko zigenda kutunuulirwa mu nteekateeka z’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027, singa ensimbi zibaawo. Yategeezezza nti abalimi nga 40 bagenda kutendekebwa ku nnima etakuuma butonde bw’ensi.

Ssekivuvu Valentine Senior Agriculture Officer nga anyonyola ku nsisinkano yabwe n’abalimi ba champion.

Era yakubirizza abalimi okukuuma obutonde bw’ensi nga basimba emiti n’okukozesa enkola y’ennima ey’okuzza obutonde bw’ensi ku mutindo, nga bwe bongera n’obungi bw’ebirime.

Mr Valentine Ssekivuvu nga anyonyola kukuzawo obutonde bwensi.

Olukiiko lwabadde ku Agricultural Development Centre (ADC) Agricultural Resources Centre e Mpigi, era lwavuddemu okukkiriziganya nti ensonga z’abalimi naddala ezikwata ku nnima etakuuma butonde zigenda kwongerwako amaanyi mu nteekateeka za disitulikiti.

Ssekivuvu nga anyonyola nebitukidwako mu budget and planning ku nsonga z’abalimu omuli ebitakosa butonde bwansi.