Buwama FM

District ye Mpigi eyimiriza okusima omusenyu mu Lwera okutaasa obutonde bwensi

21 August 2026, 7:46 pm

Ssentebe Simon Peter kawuki nga Ali n’obuwereza wa program morning Express Uncle John mu studioz za buwamafm

By Nsubuga John

Chairman WA district ye Mpigi Simon Peter kawuki alangiridde okuyimiriza emirimu gy’okusima omusenyu mu Lwera kyagamba nti singa kusigala kugenda mu maso kyandiletawo okusanyawo obutonde bwensi eri abantu basalumanya . Ssentebe kawuki Peter asinzidde Ku program ya morning Express ekubirizibwa Uncle John ebberawo buli Monday paka Friday essawa 05:00am paka 09: 00am nalangirira nga bwebayimiriza okusima omusenyu nga yesigama Ku kiragiro kya president.
Ono agamba Lwera akola kyemanyi okusengejja amazzi genyanja Nalubaale ssako nokutangira amazzi genyanja agasukiridde obutakosa bantu.

Ssentebe wa district nga anonyonyola entekateka za district ya Mpigi ezokuyimiriza abasima omusenyu bwebabadde mu studioz za buwamafm ne uncle John