Buwama FM

Ministry ey’obulimi elangiridde ekirwadde kya kalusu mu mbizzi e Mpigi

13 July 2026, 10:16 am

Dr Anna Rose Ademun commissioner mu ministry nga ali nabakuggu ba district ye Mpigi.

By Nsubuga John

Okusinziira ku ministry, ekirwadde kino okusinga kisinga kwegiriisiza mu mbizzi ezitali ngeme era nga zino ate zikoze kinene mu kulwaza abantu abettabira ennyama y’azo obulwadde bwa kalusu bwekyeyongedde okwala mu bisolo bino, ate nga kyabulabe nnyo eri obulamu bw’abantu.

Commissioner mu ministry eno nga y’avunaanyizibwa ku kwaaza ebisolo n’obulamu bwabyo Dr. Anna Rose Ademun assinzidde ku lunaku lwa district eye Mpigi lwebatuumye Pork Day, nategeeza nga obulwadde bwakalusu mu mbizzi bwebuzze n’amaanyi kubanga abalunzi babadde tebabutwala nga kikulu kubanga babadde tebakimanyi nti bwabulabe nnyo ku bulamu bwa’abantu.

Ono ategeezezza nti n’essente ezigula eddagala eligema ekirwadde kino government yazifunyedda kyokka n’ategeeza nti nga ojjeko okugema kalusu mu nte n’embuzi okubaddewo, kuluno baakugattako n’okugema embizzi kubanga bakizudde nti ate obw’embizzi bwo ate bukambwe ddala.

Dr Anna Rose nga anyonyola ku entekateka yokugema kalusu.

Ono ategeezezza abalunzi nti tebaloobooza okugema kalusu kuno mu mbizzi ate kunaaba kwabwerere, wabula bakusasulayo akasente akatono okuyimirizaawo enteekateeka eno.

Dr Rose Anna commissioner nga attanya ku nsimbi ezokugema kalusu.

Wabula ab’etabye ku lunaku no balajanye nebategeeza obuntu nga government bweyandisaanye okububakolera ku bwererere oba kale ku nsimbi entono ezisoboka.

Omutuuze nga asaba government okubakendereza ku nsimbi ezokugema.

Abalala abetabye ku lunaku luno bayongedde okusaba government okubayamba ku nsonga ezamanyi.

George William Mpande omu ku batuuze nga asaba government okubayamba.

Avunaayizibwaku kuby’obulunzi mu district eye Mpigi Dr. Daniel Kasiibule annyonyodde omulamwa n’ekigeddrewa ky’olunaku luno eri abalunzi.

Dr kasiibule akulirira ebyobulunzi e Mpigi nga anyonyola omulamwa gwa pork day.

Ku lunaku luno olubadde wansi w’omulamwa ogugamba nti “okulunda embizzi n’ekigeddrewa eky’okugatta omutindo ku bulamu bwayo” lubaddeko okusomesa ebikwata ku kulunda embizzi okw’ombulembe, era nga wabaddewo n’okuyigiriza abantu enfumba y’akantu kano mu ngeri etalwaza era n’okulya amantu bakaliriiridde ddala kumpi kusindisa bigere.