Buwama FM
Buwama FM
8 July 2026, 10:02 am

By Nsubuga John
Eky’okusengula abantu abesenza ku ttaka ly’ekibira ekiyitibwa Nsoowe ekiri mu ggombolola ye Maddu mu disitulikiti ye Gomba bitandise. Abalaalo baali bakyeddiza nga bataddeko ebirime eby’enjawulo wamu n’okulundirako.
Abebyokwerinda ku biragiro by’omukulembeze w’egwanga basengudde, abalaalo abasoba mu 5000 nga kigambibwa nti babadde balinnyiridde obutonde bw’ensi.
Ebikwekweto bino eby’okugoba abasaalimbi bidumiirwa omudumiizi wa poliisi mu bbendobendo lya Katonga, Diana Nyamisango n’abamagye ga UPDF. Gyebuvuddeko omukulembeze w’egwanga yalagira abalaalo okwamuka ekibira kino nga agamba nti enkola bano gyebayiseemu okwesenza ku kibira kino eyonoonye obutonde bw’ensi kyokka okyokubagobako tebaakitwala nga nsonga era babadde bagenda mu maaso nakwekolera mirimu gyabwe.
Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lya Katonga Lydia Tumushabe agamba nti tebanafuna buzibu bwona era bagenda muluka ku muluka okusobola okutekesa mu nkola ekiragiro kino.
Abalaalo okusinga babadde balundirako bisolo byabwe nga ‘abamu balimirako ebirime ebyenjawulo. Kalittunsi abadde akulidde ddala saako amayumba ag’ekimpatiira agaali gazimbiddwako byonna ab’ebyokwerinda okuli police n’amagye UPDF gabisaanyizzaawo.
Ebikwekwe bikyagendera ddala mu maaso era nga amakanda police n’amagye ga UPDF bagasimbye Nsoowe okumala ekiseera ekitali kigere okulaba nga tewali muntu asigadde mu kibira kino wadde okulaba abakomawo mu kibira kino.