Buwama FM

Mpigi yakugema obulwadde bwa mulangira

25 September 2026, 9:05 am

Abamu Ku baana nga bagemebwa obulwadde bwa Mulangira.

Distriict e’y’eMpigi yemu ku district ezinokoddwayo nga emu kwezo ezisinga okubaamu n’abaana abafuna obulwadde bwa mulangira (measels) era nga abamu bafudde olw’ensonga yabazadde obutafaayo kugemesa baana okubaziyiza obutafuna obulwadde buno.

Kizuliddwa nti abaana 2 beebaafa obulwadde buno ku kyalo kye Nabyewanga mu gombolola e y’enkozi songa n’abaana abalala mu byalo ey’enjawulo bateeberezebwa okuba nobulwadde buno, newankubadde nga tebannazuulibwa.

Kino nno kireeseewo obweraliikirivu mu beby’obulamu mu District eno olw’obulagajjavu bw’abazadde abakyalowooreza mu by’ekinnansi nti biwonya obulwadde buno mu kifo ky’okutwala abaana mu malwaliro okubagema.

Bino birabikidde mu lukungaana oluyitiddwa abavunaanyizibwa ku by’omulamu mu ministry y’eby’obulamu mwebayitidde abantu ab’enkizo mu District Eye Mpigi okubategeeza enteekateeka ministry y’eby’obulamu gyetegese okugema abaana abali wansi wemyaka 6 ekirwadde Kya measels ne Rubella ebyogeddwako nga ebisitudde obuto enkundi mu kutirimbula abaana abato mu gwanga.

Kizuuliddwa nti omwaka oguwedde ogwa 2025 ne guno ogwa 2026 ekirwadde Kya measels kyelisizza nnyo enkuuli mu baana era nga kubano abaana 20 abaazuulibwa n’ekirwadde baafa, nga ojjeeko abo abafiira eyo nga tebategeerekese.

Okusinziira ku ministry y’eby’obulamu abaana abazze bazuulibwa nobulwadde buno bali ebituntu 64% nga bano bbo tebaagemebwa yadde songa Bo abaana ebituntu 33%byokka baafuna doze 1 eyokka eya measels/ rubella ate abaana abalala ebitundu 3% bagemebwa omulundi gumu gwokka.

wano ministry y’eby’obulamu wesinzinde eddemu egeme abaana bonna abali wansi wemyaka 6 nga enteekateeka eno egenda kugenda ne mumasomero.

Era wano mu District eye mpigi okugema abaana wonna kutandika nga 1 mpaka nga 5 omwezi 10 nga Dr. Grolia Kisaaye Ndagire okuva mu ministry y’eby’obulamu bwannyola

Dr Gloria Ndagire Kisakye owa ministry ye y’obulamu nga atangaza Ku kugema rubella.
Dr Gloria Ndagire Kisakye Ku rubella.

Amyuka avunaanyizibwa ku by’obulamu mu district Eye Mpigi Margaret Nannozi annyoñyodde lwaki obulwadde buno ate bukomyeyo buto.

Dr Margaret Nannozi nga annyonyola Ku ntekateka yokugema rubella.

Amyuka omubaka wa president museveni atuura e Mpigi Katunze Yahaya alabudde abazadde abanazannyira mu nteekateeka ya government eno eyokugema abaana.

Deputy rdc Mpigi Mr Katunze Yahaya nga akatiriza Ku kugema rubella.

Mu mbeera yemu eno n’abakyala nabo basabiddwa okweyunira nga amalwaliro okufuna obujjanjabi kubanga obulwadde buno abaana ebitundu 90% abali mu lubuto bumusangayo kweggamba nebazaalibwa nga baliko obukosefu kubimu ku bitundu byabwe eby’omubiri oba okufuna obulemu oluvannyuma lwakabanga ku nsi singa omuzadde aba yalagajjala nga ali lubuto.