Buwama FM

Ssente ntonno nnyo tezimala

25 August 2026, 7:01 pm

Olukiiko lwa council ye buwama NGA lutudde mu buwama community learning center.

By Nsubuga John Akulirira Town council Abdu Rashid Nkinga asinzidde mulukiiko lwa council olusokedde ddala bukyanga abakulembeze balondebwa okuwereza ekisanja 2026/2031 nalagga obwelalikirivu olw’ensimbi ezibawebwa okukola emirimu NGA bwezitamala.Olukiiko luno lukubiriziddwa speaker omujja Kanakulya Alyosius Mayor Nkinga agamba okusinzira Ku bunji bw’e mirimu jebalina mu Town council ensimbi ezibawebwa ntonno ddala.

Abdurashid Nkinga nga anonyonyola ku lukiiko olutudde olusokedde ddala

Ono era alazze obwelalikirivu Ku nguddo eziri mu Town council naye nga zivunanyizibwako district NE ministry ya works nti zitekebwako ensimbi nyingi Naye nebakola gaddibe ngalye era nategeza NGA council ye buwama bwebagenda okuwandikira ministry Ku nguddo zino

Nkinga Abdurashid NGA anonyonyola ku nguddo ekikolebwa gaddibe ngalye

Mayor Nkinga Abdurashid era alambuludde nekukizibu Kya kasasiro mu buwama Town council gwagamba nti yetagga okusalira amagezi

Mayor Abdurashid Nkinga NGA attanya ku kasasiro mu Town council

Omukubiriza w’olukiiko Kanakulya Alyosius annyonyodde ku bukiiko obulondedwa okusobozesa emirimu jja council okutambula obulungi n’okutusa obuwereza Ku muntu wawansi.

Speaker Kanakulya Alyosius nga anyonyola Ku bukulembeze bwa executive ya council obulondedwa

Speaker Kanakulya era annyonyodde Ku bwetavu bwo buwereza naddala ku by’obulamu,enguddo n’ebyenjigiriza

Speaker Kanakulya nga anonyonyola Ku kusomozebwa mu nkola y’emirimu