Buwama FM
Buwama FM
17 August 2026, 12:06 pm
by kazibwe moses
mukawufube wokulwanyisa ebbula lyamasanyale mu buwama Sub county mpigi district ekitongole kya Noa Uganda kivudde okulaba nga egombolola ya buwama yonna eyaka era nga gagenda kusasanira ebyalo ebiwerako okuli kasawo nebilala

era manager wa noa Uganda kivumbi Alex agaba nti buli muntu wakufuna amasanyalaze ate nga gamala bulungi okubasobozesa okukola emirimu obulungi
mungeri yemu ssetebbe wa district ye mpigi saimon peter kawuki naye yasabye abatuuze okukozesa omukisa guno obulungi basobole okutumbula ekitundu naddala nga bwekiri nti bunjakko efuse Beach city
ate ye eyaliko ssentebe wa buwama Sub county kasule frank yebaziza aba Noa Uganda nagamba newankubadde nti yava mubukulembeze akyali wamu nenkulakulana okulaba nga egombolola ettuka kumutendera omulala okusinga nga weli
ate ye ssentebe aliko ssendegeya deo yasabye abatuuze okukozesa omukisa guno obulungi okulaba nga buli omu afuna amasanyalaze era neyeyama okukolera awamu naba Noa Uganda okulaba nti buli muntu aganyibwa munkola eno
no