Buwama FM

Abavubuka e Mpigi basunsuddwa okwesogga egye lye Ggwanga erya UPDF.

11 August 2026, 9:01 pm

Abavubuka abasunsundwa okwesogga Egye lya UPDF

By Nsubuga John

Okusunsula kuno kubadde wano ku kitebe Kya district eye Mpigi nga kukoleddwa abakugu mu kwekebejja embeera y’obulamu bwa bantu mu gye lya updf okukakasiza ddala nti abasaaba basobolera ddala okuweereza egye lye Ggwanga awatali nkenyera yonna

Omwogezi wekibinnja kyebaatuumye team one ekikola ku kusunsula mu kitundu kino ekya Buganda Lt Fravia Teri Mulungi Mulindwa Mubi agambye ekibalese kwekulaba oba abo abaasaba beebo bennyini abatuufu.

Lt Fravia Teri Mulungi Mulindwa NGA anyonyola ekibalase Ku ground.

Ategeezezza nga bwebatafunye buzibu bwonna mu kwekebejja bantu bano era nga abawala
n’abalenzi basunsiddwa kyokka nga abo abatatuukilizza bisaanyizo mu mbeera y’obulamu bwabwe balekkddwa ebbali.

Lt Fravia Mulungi nga ayongera okunyonyora Ku bisanyizo bye batunulidde mu kusunsula

Mu kusunsula kuno waliwo n’abamu abaawulidde nti wano bawaandiika abaagala okuyingira amagye lye Ggwanga era nebagya balabe oba banaabanyigamu kyokka kino kuno nekitasoboka.

Lt Fravia NGA akatiriza ensonga yabavubuka abasaaba mu budde

Bano kati kyebasigazza kwekutwalibwa batendekebwe mu bukodyo bwekijaasi okusobola okutuukana n’omutndo gwe gye lye Ggwanga.