Buwama FM
Buwama FM
3 August 2026, 3:06 pm

By Nsubuga John
Leero Ssaabasumba Paul Ssemwogerere afundikidde okukyala kwabaddeko okututte ennaku bbiri nga alambula ebifo n’abantu ab’enjawulo abasangibwa mu kigo ky’e Ggoli, era mu bifo byalambudde mubaddemu embuga y’essaza Mawokota esangibwa e Butoolo gyayaniriziddwa akuuma Entebe y’owessaza Mawokota Hajj Hassan Kasujja Kagga, Omumyuka wa Kayima II Godfrey Mujuzi Pizaroh, olukiiko olw’essaza, Abaami n’Abamyuka ba Ggombolola n’abantu ba Kabaka abalala.
Bwatuuse ku Mbuga y’essaza, Ssaabasumba mu bubaka bwe yeebazizza akuuma Entebe y’owessaza n’ebaawereza nabo okumwaniriza n’okuweereza Kabaka.
Hajj Hassan Kasujja Kagga akuuma Essaza yeebazizza Ssaabasumba okukyalako ku Mbuga y’essaza era naamutegeeza nti enkolagana ey’omuggundu weeri wakati mu bukulembeze bw’essaza ne ekereziya.
Ssaabasumba asoose kuyimba mmisa ku kigo e Ggoli era gyasinzidde eno naakubiriza abantu ba Katonda okusonyiwagana n’okukwatagana naddala abo abaafuna obutakkanya oluvannyuma lw’okulonda.
Ssaabasumba Paul Ssemwogerere yategeezezza aba kristu nti gavumenti yalangiridde nti ekirwadde kya Ebola kyaweddewo mu Uganda, kyokka naabakubiriza okwewala endwadde endala. Yeebazizza aba kristu okuzaala abaana, wabula naabakubiriza okubalabirira baleme kujuliza gavumenti era abakyazaala bazaale abo be basobola okulabirira.
Okukyala kwabaddeko okututte ennaku bbiri omwabadde n’okukuza olunaku lw’ekifo kya Ggoli parish olwakuzidwa olunaku olwa Sunday. Nga alambula ebifo n’abantu ab’enjawulo abasangibwa mu kigo ky’e Ggoli, era mu bifo byalambudde mubaddemu embuga y’essaza Mawokota esangibwa e Butoolo gyayaniriziddwa akuuma Entebe y’owessaza Mawokota Hajj Hassan Kasujja Kagga, Omumyuka wa Kayima II Godfrey Mujuzi Pizaroh, olukiiko olw’essaza, Abaami n’Abamyuka ba Ggombolola n’abantu ba Kabaka abalala
Hajj Hassan Kasujja Kagga akuuma Essaza yeebazizza Ssaabasumba okukyalako ku Mbuga y’essaza era naamutegeeza nti enkolagana ey’omuggundu weeri wakati mu bukulembeze bw’essaza ne ekereziya.
Mu budde bw’okumakya Ssaabasumba yasoose kuyimba mmisa ku kigo e Ggoli era yasinzidde eno naakubiriza abantu ba Katonda okusonyiwagano n’okukwatagana naddala abo abaafuna obutakkanya oluvannyuma lw’okulonda.
Ssaabasumba yategeezezza abantu ba Katonda nti oluyimba ekitiibwa kya Buganda lwakoleddwamu ennongosereza era basanye okulukwata baluyimbenga mu butuufu bwalwo, era wano oluyimba lwayimbiddwa okuyita mu bivuga abantu balutegeere ate oluvannyuma nabo nebaddamu okuluyimba nga bawerekera ebyuma.