Buwama FM

Sentebe wa district ye Mpigi alambude olugudo oluva mukabulego mpaka kalongero leero

11 July 2026, 8:21 pm

Sentebe Simon Peter kawuki wamu ne kansala Nakabazi Cossy akikilira abakyala ba Buwama town council ku district e’Mpigi.

By Dr Kazibwe Moses

Olunaku olwaleero sentebe wa district ye Mpigi Simon Peter Kawuki alambude olugudo oluva mukabulego mpaka kalongero okulaba embeera jelulimu era wano wakizulidde nti bingi ebitanaba kukolebwa kulwo omuli okuluyiwa malamu, okulunyiga wamu nokutekamu ebigoma

Wabula sentebe agumiza abatuuze mumuluka gwe Buyijja nga guno gulimu ebyalo nga Nsangwa, Kabango, Kalongero, Buyijja, Bumbo, Kabira, Nejobya sako Kibenge nga amasanyalaze bwebagenda okugafuna era nalambula nomulimu gwogatambuza wegutuse era nasubiza abatuze nti essawa yona baka era neyebaza abali kumulimu ogwo

Chairperson kubya masanyalaze.

Era wano wasinzidde nalaga obwelalikirivu bwe kukuba nobusobozi obutono nga district okukola engudo zona ezili mu district naye nasubiza nti nga sentebe ajagezako buli kimu okulaba nga Mpigi eba nengudo enungi

Chairperson nga ayogera kubimu ebisomoza district nadala kubye ngudo.

Mungeri yemu sentebe alaze ensonga lwaki nga ye omukulembeze abadde alina okwenyigira mu kulondola emirimu ejikolebwa mu district nadala ejjokulima engudo era nalaga nemigaso ejikilimu

Sentebe nga alaga ensonga lwaki alambudde olugudo nga aliwamu ne kansala Nakabazi Cossy.