Buwama FM

lwera agwawo lwabuwomi

6 August 2026, 4:57 pm

by Dr kazibwe moses

nga obutonde bwensi bwongera okwelalikiliza abakulembeze nabantu sekinomu munsi yonna engeri jebwongera okwononekamu sako nokusanyizibwawo mu district y’e mpigi abakulembeze basitukidemu okulaba nga bataasa lwera okuba nga tagwawo

Chairperson mpigi district mr saimon Peter kawuki nabakulembeze banne aba district.

banno nga bakulembeddwamu ssentebe wa district ye mpigi saimon Peter kawuki benyamidde olwengeri omusenyu jegusimwamu mu lwera nga bagamba nti kino tekikoma kusanyawo butonde bwansi bwoka wabula ne nnyanja eyolekedde okutataganyizibwa sako noluguddo olwa Kampala-masaka road era bavumilidde okuyikula omusenyu mu lwera ekisuse nga kino kikolebwa aba chaina abanji abali mulwera

Chairperson mpigi district nga alina byanyonyola ku nsonga zabasima omusenyu mu lwera.

era chairperson yalaze obwelalikirivu eri abasima omusenyu okumpi nenyanja nti ebyenyanja bilinza okubulwa webizalira olusi kilinza nokuvilako okusanyawo enyanja

Ekitundu awasimiddwa omusenyu mu lwera.

wabula chairman wa Nrm owa district ey’empigi ate nga ye condinator wa ONC greater mpigi mr sulaiman kaweesi yavudeyo naye neyenyamira olwabantu abanji naddala aba chaina abasenze mu lwera okusima omusenyu nga nabamu tebeyanjula mu kakiiko ke kyalo era neyesamba nababadde bakimutekako nti yomu kubasima omusenyu mu lwera era nasaba government okuvaayo etaase lwera nga tanasanawo bino yabyogeredde ku kyalo kamaliba okutudde olutobazi lwa lwera lwona

Chairman kaweesi sulaiman nga alina byanyonyola.