Buwama FM
Buwama FM
19 August 2026, 6:38 pm
Ekibinja ky’olukiiko lw’Obwakabaka olw’ekennenya enkola y’emirimo lukyaddeko e Mawokota

By Nsubuga John
Ekibinja kino kyekennenya enkola y’emirimo mu Baami ba Kabaka n’ enkiiko za bwe omwaka 2025/ 2026 ekikulembeddwamu Oweek. Nabukenya Christine leero ky’ekenenyezza enkola y’emirimo mu Ssaza Mawokota nga emu ku nkola eyitwamu okulondoola enkola y’emirimo mu baweereza b’Obwakabaka.
Mw. Mukwaya Lawrence omu ku b’olukiiko mu bubaka bwe ategeezezza nti ekimu ku bigendererwa by’enteekateeka eno, kwe kutumbula omutindo mu nkola y’emirimo mu baweereza ba Ssaabasajja nga ennongosereza zikolebwa awo awasaanidde.
Yeebazizza Obukulembeze bw’essaza olw’omulimo ogulabiddwako ogulaga nti essaza lirimu obulamu. Takomye awo yeebazizza ab’ebitongole olw’okukola nga bakulembeza ebiwandiiko era naabasaba obutaddirira.
Akuuma Entebe y’owessaza Mawokota Hajj Hassan Kasujja Kagga asanyukidde enteekateeka eno gyagambye nti abaweereza ebajjamu okwesuulirayo ogwa naggamba nga abantu abasinga bwebatambuza obuweereza bwa bwe.
Asabye enkola eno Obwakabaka bugiteekese mu nkola buli luvannyuma lw’emyezi mukaaga ku lw’ebirungi ebigirimu.
Enteekateeka eno ey’okwekenenya enkola y’emirimo eri mu kutambula okwetoolola amasaza ga Buganda 18.