Buwama FM
Buwama FM
5 July 2026, 6:04 am

By Kazibwe Moses
Ssentebbe wa district ye mpigi Simon Peter Kawuki leero bwabadde mukuzika maama wa Mr. Sande e sakabusolo nga kino kisangibwa mu buwama town council asabye abantu okuba obumu awo enkalakulana lwejja okujja
Ono asinzidde mukuzika neyenyamira kubyenjigiriza mukitundu ekyo nga bwebatayinamu wadde secondary school emu nga abantu batambula olugendo lunene okugenda kumasomero
Era wano wasinzidde nategeza nga olugendo oluva embizzinya okudda e sakabusolo bwelugenda okukolebwa mu weeks nga saatu zoka okuva leero era nasaba nabazira kissa okumukwayizako kuba district telina sente ezo zona naye ate waliwo abantu abasobola okumuyambako okulakulanya district
era wano wasinzidde nasaba abakulembeze abenjawulo okukwatagana bakolere wamu nga tebawudde bibiina byabyabufuzi ku lwa mpigi enungi