Buwama FM
Buwama FM
10 July 2026, 5:01 am

By Nsubuga John Mu nsisikano eno eyetabiddwamu omuduumizi wa police ye mpigi Kuzaala Alfred, omubaka wa president museveni mu district eno ey’eMpigi Sarah Nannono, basente ba NRM ku magombolola n”abalala basisinkanye bateese ku ngeri gyebanaakuuma akalulu kabwe ku buli mutendera newankubadde nga kaakusimba mumugongo.
Ssentebe wa NRM mu Mpigi sulaiman kaweesi ategeezezza nti buli kimu ekyetaagisa okutuusa ba candidate babwe ku buwanguzi bakimaze omuli n’okulaba nti buli agamba nti wa NRM ayagala ticket. bakakasa nti kituufu wa NRM.
Abamu kuba nnakibiina Kya NRM bagamba nti abebyokweinda basaanye bazuukuke kubanga bannakubiina balengedde mu nteekateeka y’okulonda waliwo abantu abagambibwa okuba nga batandise okutekebwa mu byalo beetabe mu kulonda nga ate si batuuze.
Wabula ssentebe wa NRM mu district eye mpigi agumizza abalonzi nti buli kimu ekyetaagisa okuwa abantu obukuumi kiwedde
Mu kiseera kino abakulu mu kibiina kino bali mu kwetegereza abo bebaawa card zaabwe okukuba tooki okulaba nti abalina kaadi balina obusobozi okuwangula ab’ebibiina abirala bebagenda okuttunka nabo.
Okulonda basentebe bebyalo n”olukiiko lwabwe, kusuubirwa okubeera yo nga 28 omwezi guno era nga abalonzi baakusimba mu mugongo gw’abo bebalonda.
District eye mpigi erimu ebyalo 339 nga bino byonna NRM esuubira okubiwangula.