Buwama FM
Buwama FM
17 September 2026, 10:45 am

Bya Nsubuga John
Olwa leero nga 17 09 2026 ekitongole ekivunanyizibwa Ku mafuuta ga Uganda ekya UNOC Uganda national oil company lw’ekitema evunikke erisoka ely’okuzimba etterekero ly’a mafuuta ga Uganda agasubirwa okutandika okusimwa essawa yonna.
Robert Mukondo akwanaganya guno na guli mu kitongole kino agamba etterekero lino ligenda kuyamba okuyitimura ebyenfuna,eby’obulamu ,ebyenjigiriza byaba na Mpigi awamu nokufuna emirimu.Ono abadde akyaddeko Ku program ya morning Express Ku buwamafm ekubirizibwa Uncle John n’ategeeza nga omukulembeze we Ggwanga Yoweri Tibuhaburwa Kagutta Museveni bwagenda okutema leero evunikke erisoka elya Kampala storage terminal erisangibwa e Mpigi mu kiringente.
Wabula ezimu Ku nsonga zanokoddeyo ennyingi mwemuli ensonga y’obutonde bwensi naddala awetolodde etterekero lino.Robert Mukondo agamba etterekero lino ligenda kubera ne buffer zone ettangila abantu abaliriranyewo okukosebwa era nga basimbye n’emitti okuyambako okukuma empewo n’omukka omulunji ogutakosa butonde bwansi.