Buwama FM

Abasawo sibamativu ku ngeri government gyekuttemu ensonga y’eby’obulamu e Mpigi .

7 July 2026, 5:07 pm

State minister owa Tourism Hon Susan Nakawuki nga ayogerako eri abasawo ba Nindye Health centre.

By Nsubuga John

Bano bagamba nti omuwendo gw’abalwadde abakozesa amalwaliro mu district eno gweyongera nga n’abasinga ku bano bava bweru wa district kino nno nekiremesa banna mpigi ate abalina okufuna empereeza ennungi n’obujjanjabi obusokerwako obutayambibwa.Mu alipoota gyebasomedde omubaka wa pariament owa Mawokota eya maserengeta era Minister mu government Susan Nakawuki abasawo bagamba embeera mwebakolera ebakaluubiridde nga noluusi ebalowoozesa okusuulawo emirimu gyabwe.Akulirara abakozi mu gombolola ye Nkozi Mpagi Edris mu alipoota y’abasawo agamba nti embeera esinga kubakaalubirira nga bafunye abalwadde abayi naye olw’entambula enzibu beesanga nga bafiriddwa abalwadde mu byokusaaga

Mr Mpagi Edris akulirira abakozi mu Nkozi subcounty ne Kituntu subcounty NGA asooma alipoota.

Bagamba government ezze esuubisa okubaako engeri gyesuumusa amalwaliro mu mpigi ate egawe ebikozesebwa naye kino kyalema, bakoma mu bigambo.Era nga basabye government okuwuliriza omulanga gwa we.

Abamu ku basawo nga balajjanira government okubayamba

Omubaka Susan Nakawuki era minister omubeezi olw’ebyobulambuzi mu lukiiko lw’egwanga olukulu abaddewo nga abasawo balaajjana.Ono nga naye mutuuze mu gombolola ye nkozi agamba nti buvunaanyizibwa bwa government okulaba nga embeera y’eby’obulamu mu mpigi elongooka naye yeewunya lwaki ebya Mpigi bikyalemye.

Hon Susan Nakawuki nga attanya ku nsonga z’ebyatagibwa.

District ye Mpigi erimu eddwaliro lya government limu elya mpigi Heath centre 4 erijjuza buli kiseera amalala gali ku mutendera gwa health center 3 kyokka nga nago ebikozesebwa bitonono ddala.