Buwama FM

Banna Mpigi battadde akazito ku bavunaanyizibwa ku by’engigiriza mu district

13 July 2026, 12:31 pm

Ekifananyi kye limu ku somero mu Mpigi.

By Nsubuga John

Banna Mpigi omubadde abatuuze ab’ebiiti eby’enjawulo ku buli mutentedera babadde ku kitebe kya district eye Mpigi okuwuliriza alipoota eva mu kitongole ekimanyidwa nga Mpigi Metropolitan Development Forum (MMDF) ekyassibwaawo okulondoola emirimu gya government egikolwa mu district eno eye Mpigi bannyonnyole lwaki obusomero somero bweyongeddennyo mu district eno nebasaba bannnyonnyole ani abukkiriza

MMDF kitongole ekyetengeredde ekirimu abatuuze ab’ebiti eby”enjawulo omuli ba nnaddiini, abasomesa, abasawo, abalimi, n’abantu ab’enjawulo ku buli mutendera nga kino kikolera wansi wa Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Program nga y’ekiwa obuyinza okundoola program za government.

Mu alipoota ya MMDF balaze nga omuwendo gw’amasomero bwegweyongedde mu district eno kyokka bwebalondodde byegasomesa nga mu butuufu galiwo kulya nsimbi mu batuuze nga omutindo gyegaliko gwa kibogwe nnyo

Bano era basabye abavunanyizibwa ku byenjigiriza mu district eno okubanyonyola ku masomero agekimpattira agamerukawo nga balaba nebatafayo kubako kyebakolawo nga kino kyongera kukakanya mutindo gw’ebyenjigiriza.

Omu ku MMDF nga asaba okunyonywalwa ku nsonga za masomero agatali ku mutindo.

Mu lukiiko luno avunaanyizibwa ku by’engigiriza mu district eno DEO, Deogratias Ssekyole alubaddemu era nga ono ebibuuzo katono bimutte nga bagamba amasomero ag’ekimpatiira gamerukawo nga aliwa

Abamu ku batuuze nga basaba okunyonyorwa ku busomero somero.

Wabula DEO Ssekyole ategeezezza nti nabo omulimu gwogulwayisa amasomero gano gubazitoweredde.

District education officer wa Mpigi Deogracious Ssekyole nga attanya ku bibuuzo ebyamubuzidwa.

Agamba nti bandidibadde bagalwayisa naye nomusolo ogugavaamu nagwo abawooza ba district bagutwala olwonno nebibasobera.

Omubaka wa govt atuula mu Mpigi Sarah Nannono akkirizza nga oggyeko amasomero g’obwannannyi agasudde eby’engigiriza naye ne mu ga government abasomesa tebakyafaawo ku mulimu gwabwe.

RDC omukyala Nanoono Sarah Kaweesi ku nsonga z’ebyenjigiriza mu Mpigi.

Olukiiko lukkanyizza nti ebikweekweeto ku masomero agatalina bisaanyizo bikolebwe mukifo ky’okutunuulira omusolo gwebagajjamu.