Buwama FM

South Korea ewaddeyo akatale n’ekyuma ky’akasoli okukulaakulanya banna Uganda.

24 July 2026, 11:11 am

Country director Ann Jihee , Kazibwe Ronald commercial officer ne vice chairman Vicky Frank Kawoya

By Nsubuga

Ekyuma ky’obuwunga n’akatale biwemmese obukadde bw’ensi za Uganda obukunukkiriza mu 600 nga bino byazimbiddwa wansi we kitongole Kya South Korea ekimanyidwa nga Korea International Corporation Agency okuyamba okusitula embeera z’abantu mu Mpigi.

Country Director w’egwanga lya South Korea Ann Jihee y’akwasizza district project eno ku lwabanna mpigi nga emu ku ndagaano eyakolebwa wakati wa Uganda ne South Korea okukwatizaako Uganda okusitula embeera z’abantu.

Akatale kano akaatuumiddwa BONGORE WOMEN FRIENDLY MARKET akasangibwa e bbongole ku lw’eMasaka kaasooka gugguleayo gyebuvuddeko era abasuubuzi nebatandika okukoleramu naye ate nekayimirira okwensonga ezitali zimu wabula nga kuluno katandikidde ddala.

Bwabadde akwasa banna mpigi project eno country Director wa South Korea mu Uganda Ann Jihee alaze obukakafu nti project y’akatale n’ekyuma bino bye babawadde bizimbiddwa ku mutindo omulungi nga tewali kuwannnanya banna mpigi baakubiganyulwamu singa banaabikwa n’owerufu.

Country director Ann Jihee owa South Korea NGA anyonyola okukozesa obilungi ebibaweredwa

Amyuka Ssente wa district ye mpigi Kawooya Vicky Frank n’akulira abakozi mu mpigi Dr. George Kwizera bategeezezza nti kuluno bagenda kuba bakambwe eri abanaazannyira mu bintu bino n’ekigeddrewa oky’okufiiriza bannabwe.

Vicky Frank Kawooya nga anyonyola okukozesa obulungi Ekyuma ekibaweredwa

wano avunaanyibwa ku byobusuubuzi n’obwegasi n’amakolero mu district eye mpigi Kazibwe Ronard waategeerezza nga District wegenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga project eno teddirira.

Commercial officer Kazibwe Ronald nga akatiriza ensonga y’ekyuma n’katale

Project y’akatale kano n’ekyuma Kya kasooli okusinga byakuddukanyizibwa bakyala bebaalowoozaako olw’ebigambibwa nti ensangi zino bakola kinene nnyo mu kuddukanya amaka kumpi kwagala kisinga baami baabwe

Bano batenderezza nnyo government ya South Korea olwenkulaakulana gyebabawadde

Omu kubakyala nga yebaza aba Korea olwa katale n’ekyuma.

Olwokuba nti ekigendererwa Kya kusitula mbeera za bamuguna mpola mu district eno abakuleze bategeezeza nti abasuubuzi mu katale kano baakubasonyiwa omusolo okumala ebbanga lya myaka esatu nga bwebalondoola ekola yabwe

Abdu Rashid Nkinga Mayor wa buwama Town council nga akatiriza ensonga z’akatale