Buwama FM
Buwama FM
19 October 2026, 9:07 pm

Bya Nsubuga John
Munnamaje wa Rwanda attiddwa mu bukambwe ku kyalo luwala, e Kammengo mu Mawokota. Abatuuze Omulambogwe bagusanze mu kibira kya Kalitunsi nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi, naye ng’abaamusse baamutemyeko omutwe ne bakuuliita nagwo
Omujaasi w’eggye lya Rwanda ategeerekese nga Saajenti Robert Kabeera, y’attiddwa mu bukambwe abantu abatannategeerekeka, ku kyalo Luwala, e Kammengo, mu District y’e Mpigi
Ono amawulire g’okuttibwakwe gaasaasaanyiziddwa abatuuze ku kyalo Luwala, oluvannyuma lw’okusanga ekiwuduwudukye nga gigangalamye mu kitaba ky’omusaayi, mu kabira akamanyiddwa nga Kaalwanga, akali ku kkubo eridda mu maka omugenzi g’abadde azimba
Okusinziira ku munywanyi w’omugenzi, Jimmy Mugalula, Saajenti Kabeera abaamusse bamaze akaseera nga bamulinnya akagere, era aliko omugoba wa boodabooda gw’alumiriza okuba emabega w’ettemu lino
Mugalula abotodde ekyama, nti: omugenzi abadde yqdduka mu maje g’e Rwanda, olwa ye ky’e yayita okunyigirizibwa okuva mu bakulira amaje gano, bw’atyo ne yeewogoma wano mu Uganda, ng’amakanda abadde yagasimba mu bitundu by’e Masanafu mu Kampala, nga gy’ava n’agenda e Kammengo okulima.
Okufa kwa Saajenti Robert Kabeera, kulesse abatuuze ababadde bawangaala naye ng’emitima gibennyise
Ssentebe w’eggombolola y’e Kammengo, Cossy Kiyingi Ssaalongo, Asabye abatuuze okukwataganira awamu ne Poliisi okuzuula abaakoze ettemu lino.
Zombie Robert Ssaalongo nga ye Ssentebe w’omwalo gw’e Ssanya awaabadde ettemu lino, aliko okuwabula kw’akoze Eri Gavumenti .
Tutuuseeko mu maka g’omugenzi g’abadde azimba mu kitundu kino, ng’ab’olugandalwe basala ntotto ku ngeri gye banaamuziikamu,naye ng’omulambo tegunnava mu ggwanika, era tebatuganyizza kubaako kifaananyi kyonna kyetukwata awabadde wakumiddwa olumbe.