Buwama FM

Abakyala abakosebwa trade order bill balajjanidde ekibiina ky’obwanakyewa

9 July 2026, 10:49 pm

By Nsubuga John

Abakyala abaali balina bu business obutono ku mabbali g’oluguudo nga kati mu kiseera kino bakaluubiriziddwa okuyimirizaawo amaka gaabwe balajjanidde ANSWERID ekibiina ky’obwanakyewa.

Embeera eno esinze kunyiga bakyala abatalina baami nga bano bakazibwako erya single mothers mu kiseera kino abatakyalina mulimu nga abamu ku bano okwebeezaawo n’okuyimirizaawo obulamu bw’abaana baabwe balina kutunda mibiri okusobola okuyita mu mbeera eno.

Bino birabikidde mu musomo gw’okukyusa endowooza mu bakyala ogutegekeddwa ministry y’ekikula ky’abantu mu government ya wakati n’ekitongole ky’obwannakyewa ekya Answerid Worldwide ogubadde mu Gombolola ye Kammengo bwebatunuulidde ebiremesezza abakyala bangi okuva mu kifo newankubadde nga bafuna ensimbi okuva mu government okuddukanya bu business bwabwe.

Nassuna Prosper owa ASWERID nga anyonyola ku biremesa Abakyala.

Okunoonyera kulaze nti embeera y’okusengula abantu eno eze nemize mingi egitaali mu bakyala abaali beekolera emirimu gyabwe nga naye olw’okwagala okuberawo bangi bayize emize gyebataaalina mu kusoka.

Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekya ANSWERID WOULD WID Betty Bwanika asinzidde mu musomo ogubadde wano e Kammengo n’ategeeza nga kino bwekiri ekyokusoomooza okunene eri government eri mu kaweefube owokulaba nga abantu baganyulwa mu nsimbi z’ebawa okwekulakulanya.

Betty Bwanika Executive director wa ANWERID nga anyonyola ku binyigiriza Abakyala.

Aba ANSWERID WOULD WIDE bazudde ebiremesesezza abakyala okwekulakulanya nga n’ekimu kubyo kwekulowooza nti bbo balina kukola bulimu butonotono ate nga babukorera kumpi n”awaka nga bano beebasinga okukosebwa mu mbeera ey’obwavu

Nassuna Prosper owa ASWERID nga anyonyola ebisomoza Abakyala nebibaremesa okugenda mu maaso

Abakyala abeetabye mu musomo guno embeera ey’okusigalira emabega mu by’enkulakulana bagitadde ku baami baabwe abatabakkiriza kwesalirawo naddala mu byensimbi kazibe business zebeetandikidde .

Abamu ku bakyala nga banyonyola ebibasomoza

Aba ANSWERID WOULD WIDE kati kawefube gwebaliko wakulaba nga babangula abakyala abayita mu mbeera eyokusoomoozebwa naddala mu by’enfuna.

Abakyala basabye enteekateeka eno ebune wonna mu mpigi kubanga abakyala bangi bayise mu kusoomoozebwa naddala mu by’enfuna.