Buwama FM

Kooti e Mpigi eyongezayo ogwa taata eyasiyigga mutabani we naffa.

19 August 2026, 1:33 pm

Courtsay photo

By Nsubuga John

Kooti enkulu e Mpigi etandise okuwulira obujulizi mu musango okuvunaanibwa omusajja Kato Damiano agambibwa okusiyaga mutabaniwe owe myaka 9 gweyezaalira.

Kato Damiano atemeza mu myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Nsangwa mu gombolola ye Buwama aleeteddwa mu maaso g’omulamuzi Ayuk Ajok owa kooti eno ebadde ekebyeko abantu okuwulira omusago guno.

Ssentebe w’ekyalo kye Nsangwa Kivumbi William kizito nga ono alina oluganda ku musajja Ono tatidde ku mulumiriza n’ategeeza kooti nga omusajja ono abatuuze ku kyalo bwebaamumuloopera nga bagamba nti yali asusse okusiyaga mutabaniwe ono.

Omusago guno kitegeezeddwa nti Kato Damiano yaguzza mu 2024 okutuusa mu April womwaka ogwo gwennyini bweyakwatibwa.

Ssentebe Kivumbi William kizito ategeezezza nti omusajja ono omuze guno yali agususizza nga omwana nebweyemulugunya nga amutiisatiisa ku mutta.

Embeera ono elowoozebwa okuba nga yaviirako omulenzi ono okufa olwobuvune obulowoozebwa okuba nga bwava ku kikolwa ekyamutuusibwako kitaawe era nga omwana Ono owe myaka 09 yaffa mu mwaka gwa 2024.

Mu kooti y’emu eno era etandise okuwulira obujulizi mu musango oguvunaanibwa omuvubuka Musa Kateregga nga naye mutuuze we buwama naye agambibwa okwekakaatika ku bbujje ly’omwaka ogumu n’ekitundu.

Omusango guno kigambibwa nti Musa Kateregga yaguzza nga 28th mu march wa 2024 bweyamugya ku bato banne namutwala mu saloon gyeyamwekakaatikirako.

Nnyina w’omwano Namaganda Joram ategeezezza kooti nga omuvubuka Ono bweyakima kawalake kano awaka kyokka n’akazza ku saawa 12 nga kawenyera era nekamutegeeza embeera etali ya buntu jeyakaasiizzaako.

Omulamuzi Ayuk Ajok emisango gyonna agyongeddeyo okutusa nga 28 zomwezi guno okwongera okuwulira obujulizi mu musango gino.