Buwama FM
Buwama FM
8 October 2026, 6:32 pm

Bya Nsubuga John
E Maddu wabalusewo obulumbaganyi bw’ensolo ettegerekeseko NGA embogo era nga abamu ku batuuze ebatusizako obulaabe.
Okusinziira ku Ssentebe we kyalo kye Maddu Ninsiima Yosam atubulidde nti ensolo eno erumbye abatuuze abali mu Ggombolola ye Kyayi mu muluuka gwe Buguula Ku kyalo Nishama era nebako bemenyemenye embirizi.
Omubaka wa president owe Gomba Ronald Katende afunye amawulire gano era narabuula abatuuze okubera obulindala nobutagezako kwenganga Mbogo Eno nga abatwala ebisoolo by’omunsiko bwebagezako okutaasa embeera
Ono agamba nga Bali wamu nabebyokwerinda balabudde abatuuze obutetantala kuyigga Mbogo Eno, okukuma abaana paaka nga ensolo Eno akwatiddwa netwalibwa mu kkuumiro lyebisolo.