Buwama FM
Buwama FM
27 July 2026, 3:44 pm

By Nsubuga John
Entekateka y’akakiiko k’ebyokulonda mu Ggwanga eyokulonda ba abakulembeze b’ebyalo kwa lunaku lw’ankya era kwa kusimba nyiriri emabegga waba candidate abesimbyewo.
Akalulu Kano kakutandika n’okukukasa abalonzi abawandikibwa mu register z’ebyalo nga abakulira eby’okulonda ku polling stations basoma mu register z’ebyalo nokukasa nti webali n’oluvanyuma kw’ekusoma abesimbyewo era abatuuze okutandika okusimba enyiriri.
Oluvanyuma anawanguula nalangirirwa akakiko k’ebyokulonda wakusoma abakola akakiiko omuli omumyuka,omuwandiisi ,defence nabalala n’oluvanyuma bakakasibwe era batekebwe mu gazette y’akakiiko k’ebyokulonda.
Kati ayogerera police mu bbendobendo lya Katonga Lydia Tumushabe akubiriza abatuuze bonna mu Mpigi okuvayo okujjumbira okulonda awatali kwelarikilira ku by’okwerinda .Ono akakasiza nti bakulawuna nokuwa ebyokwerinda eri Banna Mpigi,butambala NE Gomba nga bakozesa basajja babwe okwetolola ebbendobendo lya Katonga lyona okulaba nga okulonda kunno kugwa bulungi nnyo awatali ffujjo lyona.
Wabula era alabudde abasubira okukola effujjo nti police siyakubattira ku liso nga bakwenganga buli mukozi waffujjo nga amateka bwegalambiika.