Buwama FM
Buwama FM
30 July 2026, 4:23 pm

By Nsubuga John
Ekyeeya ekikulungudde kati emyezi essatu wano mu district ey’eMpigi okuvira ddala mu mwezi gw’omukagga kiresewo okufirizibwa obuwanana bw’ensimbi eri abalimi b’emwanyi mu district eno.Kino abalimi bakitadde ku kusanyawo obutonde bwensi omuli okutema ebibbira nansangwa nebasimba kalitunsi gwebanga nti anyunyutta ettaka ate nga tayamba kukuma obutonde bwensi,ekusanyawo entobazi NGA bazisimbamu omukyere ,okukozesa eddagala elifuyira omuddo lyebagamba linafuya ettaka obutakuma mazzi mu ttaka.
Bano bawanjagidde government n’abakulembeze okubayambako kukutekawo emmezeso z’emitti nansangwa ziwebwe abalimi okusimba mu mwanyi okuyambako okukuma amazzi mu ttaka.Era bongeddeko n’okusaba okuyambibwako ku byuma ebifukirira mu budde obw’ekyeya.
Omulimisa WA buwama Town council ne buwama sub county Omulangira Wilberforce Luwagga agamba nti obuzibu bwokukala kw’emwanyi bwona buvira ddala ku kusanyawo ebibbira n’obutonde bwensi awamu nabalimi okusimba emwanyi ezitagumikiriza kyeya .
Mulimisa akubiriza abatuuze mu buwama Town council ne buwama subcounty okwettanira ekikka kw’emwanyi elite eggumira ekyeeya awamu n’okusimba emitti NGA emiggavu,emittuba awamu n’emisizzi kwosa n’okwewala okukozesa ennyo eddagala elifuyira omuddo elitta ettaka NGA terisobola kukuma mazzi mu ttaka naddala mu budde obw’ekyeya.
Mulimisa era akubiriza abatuuze okukozesa enkola eyokufukirira mu budde obw’ekyeya nga bakozesa enkola government jeyattekawo ey’ebyuma ebifukirira ku district.
Yye akulirira district ye Mpigi kawuki Simon Peter agamba wakufafagana nabegunyiridde okusanyawo obutonde bwensi kyagamba kikoseza abantu basalumanya banji nnyo era nga wasanye okubawo ekikolebwa okutasa obutonde bwensi