Buwama FM

Basanyukidde national cleaning day nebalagga okusomozebwa.

25 July 2026, 1:13 pm

Abatuuze be buwama~Katebo road mu buwama Town council nga bakola bulungi bwansi.

By Nsubuga John

Olukiiko olukukulu olw’eggwanga lwayisiza olunaku olw’omukagga olusemba mu mwezi okukolerako bulungi bwansi mu Gwanga lyona era nga bino byalangiriddwa ssabaminista wa uganda Hon Robinah Musafiri Nabanja.Ono yategezeza nti olunaku lwa bulungi bwansi lwaleteddwa mukawefube wokulongosa eggwanga n’okwewala endwadde.

Bwebabadde bakola bulungi bwansi mu buwama Town council ekulemberwa Abdu Rashid Nkinga, abatuuze balaze obwetavu n’okusomozebwa kw’emmotaka eziyola kasasiro.

Omutuuze Ddutta nga awanjagira government kuky’emmotoka yakasassiro

Bano bagamba ekyamoleddwa government Kirungi nnyo Naye atte wetagibwa okutekawo emmotaka eziyambako okuyoola kasasiro.

Ddutta omutuuze wa buwama B nga asiima omulimu ogukoledwa

Akulira Town council omwami Abdul Rashad Nkinga asabye government okwogerezeganya n’sbasawo beby’obulamu okwongera okulaba NGA ensonga y’obuyonjo eyongerwamu amanyi kuba government abasasula sente nyingi Naye tebakoze kimala.

Mayor buwama Town council Abdu Rashid Nkinga nga asaba government Ku Kya basawo okusomesa abatuuze obuyonjo

Era asabye enkola enno eyongere ddala okutukira ddala ku muntu wawansi

Abdu Rashid Nkinga Mayor buwama Town council nga ayongera okunyonyora ku bwetavu bwokutusa enkola ya bulungi bwansi ku muntu asembayo ku kyalo

Amyuka RDC e Mpigi Katungi Yahaya asiimye government olwa national cleaning day Naye nasaba NGA district eye Mpigi okwongerwamu emmotaka ezisomba kasasiro.

Deputy rdc Katunji Yahaya nga anyonyola ku nkola yokunyonya abatuuze kukulwanyisa obukyafu

Deputy rdc era agambye bakugenda mu maso okusisinkana abakulembeze abenjawulo mu mirimu ejjenjawolo okusobozesa okwagazisa abatuuze olunaku lwa bulungi bwansi.

Eggwanga lyona leero litandise okulongosa ebitundu byabwe webawangalira mu kawefubbe WA government gweyatandise NGA wakuberawo buli nkomelero y’alwamukagga olusemba mu mwezi.
Ab’obuyinza muggwanga bayambyeko okutekesa ekiragiro kino munkola era NGA ebidduka byona NE business tezikiriziddwa kukola mu ssawa ezatekeddwawo okukolerako bulungi bwansi.