Buwama FM

Ab’ekitongole kya nature and creativity for future generations kiwadde abalimi abasinze ebirabo

18 November 2026, 7:20 pm

Akulirira nature and creativity for future generations omwami Lumbuye Francis nga ali n’abalimi be kalongero nabakuggu ba district.

By Nsubuga John

Ekitongole kino ekya nature and creativity for future generations ekisangibwa mu kammengo Ku kyalo kye Mpondwe kitegese omukolo kwebasiimidde abalimi olwokukola obulungi kubibasomeseddwa naddala okulima okwokukozesa ebyetolodde abalimi. Francis Lumbuye kalule Omu kubatandiika ekitongole kino bwebabadde bawa abalimi abasinze ebirabo anyonyodde nti bakoze kino okulaba nga oba byebaze basomesa abalimi naddala nga bakozesa ebibetoledde babitukiriza Era nebabiteka munkola.

Francis Lumbuye kalule nga anyonyola Ku bilabo ebigabiddwa nekigendererwa.

Mu nkola Eno mulimu okulima enva endiirwa nga bakozesa evvu neddagala eddala elyobutonde,obuyonjo by’omumaka,obulunzi bwe nte, embizi n’enkoko.Bino abalimi abasobodde okubiteka munkola baweredwa ebirabo omubadde watering cans, wheel barrow,eppipa,amatundubari,enkumbi ne gum boots awamu ne certificates okubasiima olwokukola obulungi

Abalimi ebegatira mu bibbina ebyenjawulo nabo basiimye omulimu aba nature and creativity for future generations gwebabakozemu nga bwegubakyusiza naddala kunyingiza yabwe.

Omukyala Berna kasirye nga anyonyola byafunye mu kitongole kino.

Bano bagamba ekitongole kikoze Kya manyi nnyo okubakyusa nemisomo jebabawedde naddala Ku bintu byebadde batafayo kubiteka mu nkola ate nga bibetolodde.

Omukyala Nakyanzi Regina nga yebaza nature and creativity.

Omukolo guno gutegekedwa Ku kyalo kye kalongero mu muluuka gwe Buyijja mu Town council ye buwama Era nga gwetabidwako akikilidde Town clerk omukyala Nakajjubi phiona,omulimisa Wilberforce luwaga, senior development officer wa Mpigi Nampera Harriet nga Ono atendereza aba nature olwo mulimu ogwebyenkulakulana.

Senior development officer Mpigi district omukyala Nampera nga anyonyola Ku ntekateka ya nature and creativity jekoze e kalongero.

Mukasa Rogers nga akola NE nature and creativity for future generations annyonyodde Ku mukolo ogukoleddwa okuzamu abalimi amanyi.

Rogers mukasa Omu kubakwanaganya nature and creativity for future generations nga anyonyola Ku ntekateka Eno.