Tiger FM

Akakiiko k’eby’okulonda e Wakiso katandise kaweefube okusomesa abantu ku nkyukakyuka ezaaleeteddwa

2 September 2024, 7:36 pm

Bya Walusimbi Saki

Akakiiko kebyokulonda mu district eye Wakiso katandise kaweefube w’okusomesa abantu naddala abakulembeze ku nkyukakyuka empya ezaaleetedwa era na biki ebigenda okugobererwa mu kalulu ka 2026.

Ezimu ku nkyukakyuka zino ezaaleteddwa akakiiko k’e by’okulonda mulimu okukendeeza ku muwendo gwa bakansala b’e bitundu, okukendeeza n’o kwongera ku bunji bw’e bifo awalondebwa, ssaako abakulembeze ku mitendera egimu okubeera nga bayivu wakiri nga balina empapula za senior eyo mukaga.

Oluvannyuma lw’o kubangula abantu ku nteekateeka zino, akulira eby’okulonda mu district ey’e Wakiso Tolbert Musinguzi ategeezezza nti enteekateka zino tezireeteddwa kubaako bezikosa, wabula nga zaakwongera okutereeza mu bukulembeze, okukendeeza ku ŋŋendo empanvu abantu zebabadde batindigga okugenda mu biffo awolondebwa, n’okukendeza ku mujjuzo gw’a balonzi mu kiffo ekimu.

Musinguzi ku nkyukakyuka.